
Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda bukyazizza Bannamaggye okuva mu Ssetendekero wa ‘Zimbabwe National Defense University’ abazze mu Bulange e Mengo okubangulwa ku ngeri obukulembeze obw’ennono gye buyambako ku nsonga z’obutenkenvu n’ebyokwerinda by’Eggwanga.
Katikkiro Charles Peter Mayiga bano ababuulidde ku byafaayo by’Obwakabaka n’obukulu bwa Buganda mu kutondebwawo kwa Uganda ey’awamu. Era ategeezezza nti ekimu ku bikyakuumidde amawanga ga Africa emabega naddala agalimu obukulembeze obw’ennono, be bakulembeze mu mawanga ago obutamanya nkizo ya bukulembeze bwa nnono mu nkulaakulana y’Ensi.
Katikkiro annyonnyodde nti abantu bakiririzza, era bawuliriza abakulembeze ab’ennono kubanga abakulembeze ab’ennono banyweza obumu mu bantu baavwe n’okubakumaakuma ku lw’ebigendererwa eby’awamu.
“Mu Buganda wano, Obwakabaka bwe bwaddawo abantu baasanyuka ne batebenkera, ate olw’okuba beenyumiriza nnyo mu Ssaabasajja Kabaka n’obuwangwa, Kabaka bamuwulira era by’abagamba babikola nga bawulira nti abafaako olwo ne babeera bumu era nga batebenkevu, bwatyo Kabaka n’abaeera musaale mu kulaba nti Uganda ebeeramu emirembe.” Katikkiro Mayiga
Owek. Mayiga era agamba nti Obwakabaka bwe bwaggyibwawo mu 1966, wagwawo obutabanguko mu ggwanga era emirembe ne gibula. Kino agamba tekikomye mu Uganda yokka wabula n’Ensi nnyingi naddala eza Africa ezibaddemu obukulembeze obw’ennono ne buvaawo ziddirira mu by’enkulaakulana naddala olw’abantu obutabeera bumu, n’okubulwa abakumaakuma. Akubirizza Bannamaggye bano okufuba okwewala obutabanguko mu Nsi yaabwe nti bukonzibya Ensi.

Bannamagye bano abakulembeddwamu Brig. Gen. Francis Chakauya basiimye nnyo omukisa gwe baweereddwa okumanya ku Bwakabaka bwa Buganda era basiimye n’engeri gye baaniriziddwamu. Ategeezezza nti baganyuddwa nnyo mu bugenyi bwabwe mu Bwakabaka bwa Buganda naddala nga beetegekera okumalako okusoma kwabwe.
Bannamaggye bano okuva mu Ssetendekero wa Bannamaggye e Zimbabwe mulimu abava mu Nsi ez’enjawulo nga Malawi, Zambia n’endala era nga basoma omwaka gumu mu Ssetendekero eno mu kwongera okubangulwa mu mulimu gwabwe naddala mu by’obukulembeze mu maggye. Bano abazze bayingira mu mwaka gwa 2024 era basuubira okumaliriza mu mwaka guno 2025.









