
Bya Samuel Stuart Jjingo
Gombe – Kyaddondo
Kamalabyonna Owek. Charles Peter Mayiga akubagizza ab’enju y’omugenzi Hajji Abdul Kareem Matovu Ntwalabaloodi olw’okuviibwako mukadde waabwe Hajjati Lukiya Nagawa Matovu era abasaasidde n’abasabira Katonda abayise mu kaseera kano ak’okusoomoozebwa ke bayitamu.
Bino Katikkiro abitadde mu bubaka bw’atisse Minisita w’Obulimi, Obwegassi, Obusubuuzi n’Obuvubi Oweek. Hajj Amisi Kakomo amukiikiridde mu kuziika Kisibe Busikiiri mu ggombolola y’e Gombe, Kyaddondo.Omugenzi Hajjat Lukiya abadde nnyina wa Mukyala w’Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Hajj. Twaha Kaawaase, amuzaalira mukyala we Hajjat. Haddy Kaawaase.
“Tubasaasira olw’okufiirwa maama gwe mubadde mweyagaliramu mu myaka gye egy’obukadde,” Katikkiro Mayiga.

Ye Owek. Kaawaase yebaziza abaana n’abazzukulu okufaayo ennyo okujjanjaba mukadde waabwe mu kaseera kaabadde omulwadde era asabye okutambuza omukululo omugenzi gwalesse ogw’okusembeza buli omu.
Sheikh Obed Kamulegeya ye akubirizza abaana okugonderanga bazadde baabwe olwo babeere mu bulamu obw’okwesiima nga bavudde mu bulamu bw’okunsi.
Abaana n’abazzukulu bategeezeza nti baviiriddwako omuntu ow’omugaso era nga bajja kumujjukirako ebintu bingi nnyo okuli; okulabirila abazzukulu be naddala abakyali mu ssomero, omutima omugabi n’ebirala.
Okuziika kuno kwetabiddwako abantu bangi nnyo okubadde Minisita w’Enkulakulaana y’Abantu Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko, Baminisita ba Kabaka abaawummula, abakungu okuva mu gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka ne gavumenti eyawakati, abakulembeze b’eddiini y’Obusiramu, ab’emikwano gy’omugenzi n’abalala.
