Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akyazizza Hon. Raila Odinga okuva mu ggwanga lya Kenya.
Odinga agambye nti Ssaabasajja mukwano gwe nnyo nti era tasobola kujja mu Uganda natagenda ku mu buzaako. Boogedde ku ngeri gyebayinza okweyambisaamu obufuzi Obw’ensikirano okunyweza omukago gw’obuvanjuba bwa Africa (East African Community).
Ensisinkano eno ebadde mu Lubiri e Mengo yetabiddwamu omubaka wa Kenya mu Uganda (Ambassador) His Excellency Kiema Kilonzo, ababaka ba Palamenti ya Kenya, Hon. Florence Mutua, ne Mishi Mbogo.
Raila Odinga yavuganyako ku bukulembeze bw’Eggwanga lya Kenya ate era nga yaliko katikkiro (Prime Minister) mu palamenti ya Kenya.