
Bya Miiro Shafik
Nkumba – Busiro
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubagizza ab’enju y’Omugenzi Amb. William Solomon Matovu mu maka g’omugenzi e Mpala – Nkumba
Owek. Mayiga atuuseeko mu maka g’omugenzi e Mpala okusaasira n’okugumya abooluganda lw’Omugenzi era abasabye okutwala omukululo gw’Omugenzi ng’ekikubagizo gye bali, kubanga bingi by’alese akoze.

“Owek. Matovu abadde musajja mumanyi mu nsonga z’Obwakabaka n’eza Uganda yonna era nga tumwebuuzaako mu bintu bingi, abadde muwabuzi eri abantu bangi ate ng’akumaakuma abantu” Katikkiro Mayiga.
Kamalabyonna ategeezezza nti omugenzi abadde ayagala nnyo Kabaka we, n’Ensi era aweerezza obuteebalira mu bifo eby’enjawulo. Annyonyodde nti Owek. Matovu ng’awummudde emirimu gya Gavumenti eya wakati, yanyikira mu kuweereza Kabaka we era yaliko omuwandiisi ow’enkalakkalira nu woofiisi ya Katikkiro ku mulembe gwa Katikkiro Mulwanyamuli, gye yava n’adda mu woofiisi ya Kabaka. Ono waafiiridde nga atuula ku bbodi y’ekitongole; Kabaka Foundation.

Ku lw’Abenju, Omutaka Muwonge Timothy ow’Omutuba gwa Kajabaga mu Kika ky’Engabi, ategeezeza nti muzukkulu we ono abadde muntu eyesigirwako mu bintu bingi olw’obumanyi bwe n’embeera ze ez’okusomesa n’okuyigiriza abalala bye batamanyi. Agamba nti Ekika kifiiriddwa omuntu olw’enkizo abadde akumaakuma abalala.
Ono yebazizza nnyo Katikkiro olw’ebyo byonna by’ayogedde ku mugenzi mu lukiiko lwa Buganda, era yebazizza n’Abooluliiko lwa Buganda olw’okusiima emirimu gy’Omugenzi n’Obuweereza bwe eri Obwakabaka.
Ono ategeezeza nti omubiri gw’Omugenzi gujja kutuusibwa mu maka ge ku Lwokusatu, era wabeewo n’okusabira mu lutikko e Namirembe ku lunaku lwe lumu mu kusaba okunaatandika ku Ssaawa mukaaga n’ekitundu ez’emisana.

Obwakabaka bwataddewo olukiiko olukola ku nteekateeka z’okuwerekera Omugenzi mu kitiibwa ekimugwanidde era ng’olukiiko lukulemberwa Owek. Noah Kiyimba, Minisita wa Kabineeti, Olukiiko, Abagenyi n’Ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro.









