• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Enkyukakyuka mu Bukulembeze bwa Leediyo CBS

Gambuuze by Gambuuze
April 23, 2025
in Amawulire
0 0
0
Enkyukakyuka mu Bukulembeze bwa Leediyo CBS
0
SHARES
39
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Ssaabasajja Kabaka Asiimye n’alonda bboodi empya eya Leediyo CBS egenda okuweereza ebbanga lya myaka esatu (3). Bino bikakasiddwa ekiwandiiko ekiteereddwako omukono Katikkiro Charles Peter Mayiga.

Bboodi eno egenda kukulemberwa Omuk. David Balaka nga Ssentebe waayo ng’ono asuumusiddwa okuva ku bumyuka bwa Ssentebe bw’abaddeko ku bboodi enkadde, ate nga amyukibwa Omuky. Solome Nasejje Luyombo naye abadde mmemba ku bboodi empya.

Abalala abalondeddwa ku bboodi eno kuliko Owek John W. Katende, Omw. Haruna Nnyanzi Lule, Omuk. John Fred Kiyimba Freeman., Omuky. Brenda Ssekabembe, Omw. Benedicto Kiwanuka Bamweyana, Omw. Francisco Ssemwanga, ne Omuk. Micheal Kawoya Mwebe (omuwandiisi wa bboodi).

Bw’abadde alangirira bboodi eno, Owek. Israel Kazibwe Kitooke ategeezeza nti bboodi eno etuulako ba ddayirekita abalala basatu abalonderwa mu lukiiko lwa bonna nga bakiikirira emigabo gy’obwannannyini.

Mu bubaka bwa Katikkiro, yebazizza bboodi eyawummudde olw’obuweereza obulungi obuvuddemu ebibala ebirabwako, ebikuumidde leediyo y’Obwakabaka ku ntikko, era yebazizza abakiise bonna olw’ebiriwoozo bye bataddewo mu bbanga ery’emyaka omukaaga (6) gye baweereza.

Katikkiro ayanirizza abakiise ba bboodi abaggya, n’abaagaliza obuweereza obulungi n’abasaba okufaayo okulaba nga Leediyo ya Nnyinimu esigala ku ntikko.

Kinnajjukirwa nti bboodi enkadde yasiibuddwa nga 22/04/2025, era nga ku bantu abawumudde kuliko Omuk. Mathias Katamba, abadde Ssentebe waayo, Owek. Kaddu Kiberu, Owek. Joyce Nabbosa Ssebuggwawo, Omw. Mansoor Bunnya ne Omuk. Jamir Ssewanyana.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist