• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'obulimi

Obwakabaka bwakuwaayo Ttulakita 5 eri amasaza ag’enjawulo okutumbula eby’obulimi

Gambuuze by Gambuuze
April 9, 2025
in Eby'obulimi, Ebyenfuna
0 0
0
Obwakabaka bwakuwaayo Ttulakita 5 eri amasaza ag’enjawulo okutumbula eby’obulimi
0
SHARES
31
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Bulange – Mmengo

Obwakabaka bwa Buganda bwakuwaayo Ttulakita ttaano (5) nnamba okutumbula eby’obulimi mu masaza ag’enjawulo kiyambeko okuggya abantu ba Kabaka mu bwavu.

Okusinziira ku Ssenkulu w’ekitongole kya BUCADEF nga kino kyekivunaanyizibwa ku by’obulimi mu Buganda, Omukungu Alfred Bakyusa Ttulakita zino zigenda kugabwa eri amasaza era abalimi bajja kuba bazipangisa bazeeyambise okulima naddala abo abalina ettaka eddene kibayambe okukolera mu budde era bagatte omutindo kwebyo byebalima.

Omuk. Bakyusa agamba nti  guno gwegumu ku mikolo egirondeddwa okukulembera omukolo omukulu ogw’okujjukira Amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’emyaka 70 nga guno gwakubaawo nga  11/04/2024.

Omuk. Bakyusa anyonyodde nti okugaba Ttulakita mu masaza gonna yali nteekateeka nnene mu nnamutayika w’Obwakabaka okulaba nti eby’obulimi bitumbulwa mu Buganda nga abantu balima mu nnima ey’omulembe wamu neku ttaka eggazi nga ekigendererwa kya nkulakulana mu bantu ba Buganda babeere bulungi okuyita mu bulimi.

Ono ategeezezza nti Kkalakita zakuziba eddibu ly’abantu okulima emmere y’okulya awaka yokka wabula n’okugaziya mu byenfuna. Amaka agalina ettaka eddene nga galimisa nkumbi yooka ekibavirako okulima ebirime ebitono naye bwebabongeramu amaanyi ga tekinologiya ono bakwongera ku muwendo gwe birime.

Omuk. Bakyusa annyonnyodde nti BUCADEF yasaawo akakiiko ku buli Ssaza akanalung’amya nga enkola za Ttulakita ezo wamu nabanaazivuga era bakutalaaga amasaza nga basomesa abalimi enkozesa ya Ttulakita zino ku nnima eyomulembe nga  mu kusiga, mukufukirira, mukukoola wamu namakungula.

Ono agamba nti  buli mulimu alina omukisa okukozesa kkalakita ya Beene eno nga ayita mu mitendera egy’okusaba akakiiko akasidwawo okulungamya enteekateeka eno era kano kajja kusookanga kulambula ttaka lirina okulimirwa era kagereke ensimbi ezirina okusasulwa.

Omuk. Bakyusa asabye abantu bonna baleke kwesiba ku mirimu mirala wabula esuubi baliteke mu kulima era alaze okwenyamira nti bafuna obuzibu bwa masomero agaawanga abaana ebibonerezo by’okulima nebaletera abayizi okwenyiwa obulimi ate nga mwemuli essuubi erisobola okukyusa obulamu bwabwe.

Ono akuutidde abagenda okuganyulwa mu Ttulakita zino okukola kyonna bazikuume kuba Omutanda yaziwaddeyo kugasa bantu be era beewale ebiyinza okuzonoona n’okuzibbamu ebyuma.

Amasaza agagenda okusooka okuganyulwa mu nteekateeka eno kuliko; Buwekula, Mawokota, Bugerere, Kooki, ne Mawogola.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.