• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Empaka z’Ebitone mu baana  b’amasomero zifundikiddwa, basabiddwa okubitumbula

Gambuuze by Gambuuze
April 7, 2025
in Agafa e Mengo, Amawulire, Ebyenjigiriza
0 0
0
Empaka z’Ebitone mu baana  b’amasomero zifundikiddwa, basabiddwa okubitumbula
0
SHARES
55
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Kakeeka – Mmengo

Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Eby’obulambuzi n’Olulimi mu Bwakabaka, Owek. Dr Anthony Wamala asabye abayizi okukozesa ebitone byebalina okuyitimuka era bibayunge ku bantu ab’omugaso olwo ensi ebanguyire.

Obubaka buno, Owek. Wamala abuwadde aggalawo empaka z’ abaana bamasomero mu Buganda abavuganyizzza mu nnyimba, amazina ne katemba  eziyitibwa Buganda Royal Art Shield Festival- BRASFIELD  eziyindidde ku Muteesa I Royal University era omuwanguzi akwasidwa Engabo.

Minisita Wamala agamba nti ekitone kirina kisobola okyanguya ebintu bingi era nekibayamba okuyiga okukolagana nabantu, okubeera obumu,  okwekiririzaamu singa Nnyinimu akikwata obulungi.

Ono yeebazizza amasomero ageetabye mu nteekateeka eno nga basomesa era n’okuteekateeka abayizi mukuyimba okuzannya emizannyo n’okutontoma ekyongera okuwa abayizi omukisa okukyusa obulamu bwabwe.

Owek. Wamala asabye abazadde bayambe nnyo abaana babwe okukuza ebitone byabwe era abasabye okubeerawo n’omwaka oguddako.

Ssentebe w’olukiiko oluteesiteesi olw’empaka zino Dr Wamala Kintu ategeezezza nti omwaka guno batambulidde ku mulamwa ogwa mazaalibwa ga Kabaka nga byonna byebakoze omuli amazina ga bakisimba, obuyiiya bwe nyimba z’amaloboozi byolesedwa bulungi amasomero agetabyemu era bonna bavuddeyo bawanguzi

Empaka zino ziwanguddwa aba Clevers Origin Schools ku mutendera gwa Pulayimale era omutandisi w’essomero lino  Mugwanya Christopher principle yeebazizza nnyo Ssaabasajja olw’enteekateeka eno eyigiriza abaana eby’ennono, empisa n’okumanya okuvuganya basobole okumanya nti ensi gye bayingiramu ya kuvuganya.

Nakiganda Hellena asoma P6 ku Good Times Infant School e Kawaala alaze esanyu olw’essomero lye okukwata eky’okubiri era nategeza nti ayize ebintu bingi kwosa n’okumanya amannya ga Ssaabasajja ag’enjawulo.

Amasomero agasuka mu 19 ge geetabye mu mpaka zino nga ku mutendera gwa Siniya era omutendera guno guwanguddwa aba  St Mary’s Assumption secondary School nedirirwa Janan Schools.  

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist