
Omupiira guno gubadde wakati w’ekika ky’Embogo n’e Kkobe wali e Masaka mu Recration Ground.
Omupiira gugenze okugwa nga Embogo ewangudde empaka z’omupiira gw’ebika by’abaganda bw’ekubye e Kkobe goolo 1-0, eteebeddwa Nelson Ssenkatuuka. Ate mu bakyala e Nnyonyi e Nnyange ekubye e Mmamba.
Ssaabasajja akwasizza abawanguzi engabo wamu n’emidaali.
Ssaabasajja Kabaka nga akwaasa ab’ekika kye Mbogo e Ngabo oluvanyuma lw’oluwangula e mipiira gy’ebika Tiimu y’ekika kye Mbogo nga bajaganya oluvanyuma lw’okukwasibwa engabo wali e Masaka mu Buddu. Ssaabasajja Kabaka, omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi, Katikkiro wa Buganda ne Minisita w’ebyemizannyo mu Bwakabaka Owek. Henry Sekabembe nga bambaza tiimu y’abawala emidaali wali e Masaka mu Buddu.