• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Nnaabagereka atongoza ‘Queens Ball’ 2025, Asabye Gavumenti okwongera ku malwaliro agajjanjaba abalwadde b’ emitwe

Gambuuze by Gambuuze
March 13, 2025
in Amawulire
0 0
0
Nnaabagereka atongoza ‘Queens Ball’ 2025, Asabye Gavumenti okwongera ku malwaliro agajjanjaba abalwadde b’ emitwe
0
SHARES
42
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Shafik Miiro

Bulange – Mmengo

Nnaabagereka Sylvia Nagginda atongoza ekijjulo kya ‘Queens Ball’ eky’ omwaka 2025, naasaba Gavumenti okwongera ku malwaliro agajjanjaba abalwadde b’omutwe kiyambe abalina obuzibu buno okufuna obujjanjabi obugwanidde.

Okusaba kuno Nnaabagereka akukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna naakuutira Abantu okuyambako kwabo abalina obuzibu ku bwongo olwo kiyambeko okukendeeza ku muwendo gw’abantu abafuna obuzibu buno

Nagginda ategeezezza nti abantu bangi bafuna obukosefu ku bwongo kyokka embeera eno ne bagisirikira ate abamu nga tebamanyi bumanya kibasumbuwa.

Agasseeko nti enteekateeka y’ekijjulo kino, eriwo okwongera okumanyisa ku bulwadde buno, okugatta amaanyi n’okusonda ensimbi okuyamba kw’abo abalina obukosefu ku bwongo.

Minisita w’ Ebyobulamu, Embeera z’ Abantu wamu ne Woofiisi ya Nnaabagereka, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko annyonnyodde nti nteekateeka eno egenderera okulaba nti okwetya okwogera ku bulwadde bw’obwongo kuggwawo.

Ono agamba nti Nnaabagereka omumuli gw’akutte gwakwongera amaanyi mu kumanyisa abantu bwe bayimiridde, n’abalina obusobozi okuyamba kw’abo abalina obukosefu ku bwongo era singa wabaawo okukwatira awamu embeera esobola okutereera.

Akulira eddwaliro ly’e Butabika, Dr Juliete Nakku agamba nti okuva ekirwadde kya COVID-19 bwekyalumba eggwanga omuwendo  gw’ abafuna obuzibu mu bwongo gwe yo gera nnyo mu bavubuka.

Dr. Nakku ategeezezza nti ebibalo biraga nti ku buli bantu bana kuliko omu alina obukosefu ku bwongo era  n’okunonyereza okwakolebwa Minisitule y’Ebyobulamu n’eddwaliro lye Butabika kwalaga nti abaana abato naddala abakyali mu masomero ebitundu 30%, balina embeera etali ntebenkevu mu bwongo bwabwe ekintu ekiviirideko abamu okwetusaako ebikolwa eby’okwagala okweggya mu bulamu.

Okusinziira ku Suzan Lubega ng’ono ye Ssentebe wa Nnaabagereka Fund atubuulidde nti ekijjulo kino kya kubeera ku Sunset Terrace – Speke Convention Center e Munyonyo nga  2/05/2025 wansi w’omulamwa ogugamba nti “Obujjanjabi bw’ebirowoozo”

Bannamukago ab’enjawulo nga bakulembeddwamu I&M Bank, Plascon n’abalala, bavuddeyo okuwagira enteekateeka eno okugamba kwabo abalina obukosefu ku bwongo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist