• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga ayanjudde enteekateeka z’ okutereka Omulangira Daudi Golooba  

Gambuuze by Gambuuze
February 24, 2025
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga ayanjudde enteekateeka z’ okutereka Omulangira Daudi Golooba  
0
SHARES
79
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo 

Bulange-Mmengo

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga abikidde Obuganda amawulire g’okuseerera kw’ Omulangira Daudi Ssimbwa Kazibwe Golooba eyaseredde ku Ssande nayanjula n’enteekateeka z’ okumukungubagira wamu n’ okumutereka.

Obubaka buno abuweeredde mu Bulange e Mmengo ku Mmande bw’ abadde ayogerako eri bannamawulire.

Katikkiro Mayiga ategeezezza nti Omulangira Golooba abadde  mu ddwaliro e Nsambya gyabadde apocelaza ne kirwadde kya ssukaali. 

Owek. Mayiga agambye nti wateekeddwawo  akakiiko akasibwawo okulaba nti enteekateeka zonna zitambula bulungi nga ssentebe waako ye mumyuka asooka owa Katikkiro, Oweek Twaha Kaawaase Kigongo era amyukibwa Minisita w’eby’obuwangwa, Oweek Anthony Wamala.

Akakiiko Kano era kuliko; Oweek Noah Kiyimba, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, Oweek Bbaale Mugera kwossa n’omwami Joseph Mugagga okuva mu ggwanika lya Buganda.

Kamalabyonna ategeezezza nti leero wajja kubaawo olumbe mu maka g’Omulangira e Kiwafu Kansanga ate enkya Omulangira Golooba asaalirwe ku muzikiti gwe Kibuli nga 25/02/2025.

Oluvanyuma ajja kutwalibwa ku masiro e Kasubi oluterekebwa wamu n’okwogera okwenkizo gyekunabeera kwossa n ‘okuteekako omusika engeri gyabadde Omulangira wa Mujaguzo.

Omulangira Daudi Ssimbwa Kazibwe Goloobayazalibwa nga 14/04/1953 nga emisomo gye egya Pulayimale yagikwatira ku Buddo Junior school mu 1961-1967, ate siniya nagikwatira ku King’ College e Buddo mu 1967-1972, ate eyo gyeyava neyeyunga ku ssetendekero wa Makerere University mu 1972-1976 gyeyafunira ddiguli ey’obyobufuzi.

Kino yagattako ebbaluwa okuva ku ttendekero Center for Marketing  and Managment Studies e Bungereza mu1982-1986.

Emirimu Omulangira gyakozeko kuliko okubeera bbanka maneja wa UCB kati eyitibwa Stanbic okuva mu 1976-1982 era nakolerako mu Glowstar Hotel ne Lank star Hotel mu London.

Omulangira yawasa mukyala we kati omugenzi Mirian Nagawa Lubogo eranga alesse abalangira babiri, abambejja basatu wamu nabazukulu.

Omulangira yakola emirimu mingi naddala nga Obwakabaka tebunaddawo okusingira ddala nabo abaganda abawangaalira e Bungereza mu bibiina ebyenjawulo ebyabakumakumanga.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist