• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Okukuza Olunaku lw’ Abaana mu Buganda, Katikkiro Mayiga asabye abaami okufaayo

Gambuuze by Gambuuze
January 21, 2025
in Agafa e Mengo
0 0
0
Okukuza Olunaku lw’ Abaana mu Buganda, Katikkiro Mayiga asabye abaami okufaayo
0
SHARES
43
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Bulange – Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga akuutidde bataata mu maka okufaayo ku baana babwe abalenzi bwebaba baagala babeere bamugaso munsi beewale okukula omuwawa.

Obubaka buno abutisse Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa  bw’abadde amukiikiridde okutongoza akakiiko akagenda okutegeka olunaku lw’abaana mu Buganda  ku mukolo oguyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.

Olunaku luno lujja kubaawo omwezi ogujja (Febraury) nga 12 mu Lubiri lwa Ssabasajja e Mengo, wansi w’omulamwa,”Eddoboozi lya baana lya mugaso nnyo mu nkulaakulana ya Buganda.”

Owek. Mayiga nti Obwakabaka abaana bubatwala ddala nti bamakulu mu nkulaakulana era y’ensonga lwaki Omutanda yasiima atandikawo ensawo eweerera abayizi saako okutandikawo Nursery ku mbuga z’amasaza gonna mu Buganda.

Ono agattako nti omwana bwalambikibwa mu myaka egisooka olwo nga ajja kuvamu omuntu ow’omugaso era agasa eggwanga lye.

Katikkiro Mayiga abasabye nti munteekateeka eno baleke kwogera nabaana bokka wabula bafunire nabazadde obubaka bwabwe obubayamba okufuuka abazadde abajjuvu kuba bano beebasobola okuvaamu omwana eyeesiimisa.

Ono ategezezza akakiiko nti kafube  okusoosowaza ensonga z’omwana omulenzi kuba abaana abalenzi bakuziddwa nga tebalina buvunanyizibwa ekitadde omwana omuwala mu katyabaga.

Minisita w’embeera z’ abantu mu Bwakabaka, Owek Mariam Mayanja Nkalubo ategezeza nti minisitule efuba okulaba  nga bayigiriza abaana olulimi lwabwe wamu n’okutegera obulungi omulamwa ogwo oguba gubaweredwa.

Okukiiko olutongozeddwa kuliko Omuky. Esther Nakafuko nga ye ssentebe, Luke Siduda amyuka ssentebe, Hellen Grace Namulwana muwandiisi kwossa ne bamemba okuli Oweek Rashid Lukwago,Kevin Mubuuke, Paul Musoke nabalala bangi.

Ssentebe w’ akakiiko kano, Esther Nakafuko aweze kulwa banne okukola ekyetaagisa enteekateeka eno okutambula obulungi.

Olunaku lw’abaana mu Buganda olw’okubaawo omwezi ogujja (Febraury) nga 12 mu Lubiri lwa Ssabasajja e Mengo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist