Kaweefube azeemu wali mu bimuli bya Bulange
Ekitongole kya Kabaka Foundation kye kiwomyeemu omutwe mu kawefube ono ow’okugema obulwadde bw’ekibumba mu bimuli bya Bulange- Mengo era nga kaweefube ono wakumala ennaku bbiri mu bitundu bye Kampala .
Omwami Kaggwa Ndagala Edward, Ssenkulu wa Kabaka Foundation akubidde bana Uganda bonna omulanga okujjumbira enkola ey’okwekebeza awamu n’okwegemesa ekirwadde kino naddala abavubuka. Era mwami Ndagala asabye abakozesa bakubirize ate bakirizze abakozi baabwe okugenda okwekebeza okutegeera obulamu bwaabwe bwebuyimiridde ate era n’okwegemesa obulwadde buno obwa Hepatitis B.
Obulwadde buno bumanyiddwa nnyo mu kukwata ekibumba era nga bwabulabe nnyo eri obulamu bw’omuntu yenna abeera abufunye, abakugu bagamba nti busobola okuvirako omuntu okufa. Omuntu yetaaga okugenda okumugema emirundi esatu era nga tonagemebwa wetaaga osooke okeberebwe wekenenyezebwe, era bwekizuulibwa nga olina obulwadde buno awo nga otandika eddagala ate bwoba nga tolina awo bakugeme okukuziyiza okufuna obulwadde buno .