• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Weerinde Insurance yakufuna amatabi mu Masaza gonna ag’Obwakabaka

Gambuuze by Gambuuze
January 17, 2025
in Amawulire
0 0
0
Weerinde Insurance yakufuna amatabi mu Masaza gonna ag’Obwakabaka
0
SHARES
357
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Shafik Miiro

Kampala

Kkampuni y’Obwakabaka eya Yinsuwa eya Weerinde Insurance Brokerage Services Ltd. etegeezezza nti etegeka okuteeka amatabi mu buli ssaza lya Buganda okwanguyiza bannayuganda n’okubasembereza empeereza.

Kino kibikuddwa Ssentebe w’olukiiko olufuzi, Omuk. Evelyn Kigozi Kahiigi,  bw’ abadde mu lutuula lw’olukiiko olufuzi olw’ekitongole kino olutudde e Kira mu Kyaddondo ku Lwokutaano.

“Omwaka oguwedde twatongoza enkola ya Munno mu kabi n’ettabi lyaffe mu Ssaza Buddu, era tutambula bulungi, kati ate mu mwaka guno twagala okubunyisa matabi gaffe n’empeereza za yinsuwa ez’enjawulo mu Masaza ga Buganda gonna” Omuk. Evelyn Kigozi Kahiigi, Ssentebe w’olukiiko olufuzi bw’ategeezezza.

Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof Twaha Kaawaase Kigongo ng’ono awadde omusomo eri ba mmemba ku bboodi eno ku ngeri y’okutambuzaamu emirimu gy’ekitongole kya yinsuwa ekikula era nokwongera okukimanyisa ensi.

Owek. Kaawaase abakubirizza okugoberera emitendera gyonna egyetaagisa mu kutambuza emirimu gy’ekitongole nga kya Bwakabaka ate n’okutuukiriza ebisaanyizo ebisabibwa ebitongole ebirungamya kkampuni za yinsuwa.

Abasabye  okukuuma ekitiibwa ky’ekitongole, buli mmemba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe, okusoosowaza ebyo abantu bye baagala mu kkampuni za yinsuwa nga banyweza obwesige, obwerufu n’obwenkanya mu nkola y’emirimu.

Prof. Kaawaase abeebazizza olw’bujjumbize mu nteekateeka z’Obwakabaka ng’akabonero akalaga nti bakola ekisoboka okumanyisa abantu ba Kabaka obuweereza obw’enjawulo bwe balina.

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa naye eyeetabye mu lusirika luno, yebazizza ab’olukiiko lwa bboodi olw’okukola emirimu gy’ekitongole mu mbeera ey’okwewaayo n’okwerekereza.

Owek. Nsibirwa atenderezza engeri ekitongole gye kikula buli mwaka era kino akyesigamiza ku buyiiya n’okulemerako ebyeyolekera mu bakozi b’ekitongole okuviira ddala ku Ssenkulu.

Abakubirizza okwongera okunnyikiza obuyiiya nga bateekawo ebyo ebitabadde mu katale ka yinsuwa, ng’akikaatiriza nti obuyiiya bwe bufudde Weerinde kkampuni ey’enjawulo mu katale ka yinsuwa.

Ssentebe w’Olukiiko olufuzi, Omukungu Evelyn Kigozi Kahiigi awadde alipoota y’ekitongole ey’omwaka ogukubiddwa amabega n’ayanjula n’ezimu ku nteekateeka ezitunuuliddwa mu mwaka omuggya.

Ono akowoodde abantu ba Buganda okwongera okwettanira yinsuwa kubanga emiganyulo mingi gy’ereeta egiyamba abantu mu biseera eby’obwetaavu.

Olusirika luno lwetabiddwamu bammemba ba bboodi y’ekitongole kino wamu n’abamu ku bakozi abakola emirimu egiyimirizaawo ekitongole buli lunaku nga bano bakulembeddwamu Ssenkulu w’ekitongole, Omuk. Jennifer Mirembe Sswesuwa.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.