• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Katikkiro Mayiga asabye Abasaakaate okwekuuma mu myaka gy’ Ekivubuka

Gambuuze by Gambuuze
January 11, 2025
in Agafa e Mengo, Amawulire, Ebyenjigiriza
0 0
0
Katikkiro Mayiga asabye Abasaakaate okwekuuma mu myaka gy’ Ekivubuka
0
SHARES
70
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange – Mmengo

Katikkiro Mayiga asabye Abasaakaate okwekuuma mu myaka gy’ Ekivubuka nga bafuga emibiri gyabwe wamu n’okukozesa omutwe okulowooza ku butuufu bwebyo byebabeera bagenda okukola  basobole okufuna ebiseera by’omu maaso ebitangaavu.

Entanda eno agiweeredde Bulemeezi ku Ssomero lya St. Janan awali Ekisaakaate kya Nnabagereka ekya Gatonnya 2025 ku Lwomukaaga bw’abadde ayogerako eri abakyetabyemu.

“Tokkiriza mu myaka gino egy’ ekivubuka, omuntu okukozesa ekintu nga kikyamu naawe nokikozesa nga olina obwongo. Byemuyize wano bibayamba okukola ekituufu nga muli mu myaka gino kubanga mwe ssuubi lye ggwanga eppya ate eddamu,” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.

Katikkiro Mayiga alabudde Abasaakaate ku myaka gy’ ekivubuka  kubanga gino gijja nekyukakyuka mu mubiri  ez’obutonde ezirabikako omuli okugejja eddoboozi, abawala okugenda mu nsonga wamu  n’endala naye naabasaba okwefuga n’okufuga emibiri gyabwe singa bafuna okusomoozebwa.

Ow’omumbuga agamba nti Ekisaakaate kibayamba okumanya nti wadde mubutonde basobola okufuna enkyukakyuka zino naye basaanye okukozesa emitwe gyabwe okwewala ebizibu nga Mukenenya, ebiralagalalaga kubanga omuntu mulamu asobola okwefuga era nakozesa n’omutwe gwe okulowooza.

Owek. Mayiga era alabudde Abasaakaate ku bulabe obuli mu nkozesa y’ Amasimu era baleme okugimalirako nnyo budde era basosole mwebyo byezibawa kuba ebimu bya bulabe ate sibaggyako n’okubeera nti basobola okwelowooleza.

Minisita w’Ebyenjigiriza wamu n’Embeera z’Abantu mu Bwakabaka, Owek. Cotildah Nakate Kikomeko yeebazizza Omutanda olw’okukkiriza Ekisaakaate kino okutandika era nekibangula abaana b’eggwanga ekiyambye ku lugendo lw’okuddamu okuzimba obuntubulamu.

Ye Ssaabangujuzi w’ Ekisaakaate, Owek. Rashid Lukwago ategeezezza nti abayizi bayize bingi ku mulundi guno kubanga ekifo kigazi ekimala nekisobozesa Abasaakaate okwetaaya.

Ono yeebazizza abazadde olw’okuwa abaana omukisa era naasaba Abasaakaate okukimanya nti obuntubulamu butandikira ku bbo era kwekuyimiridde eggwanga eddungi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist