• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro  Mayiga Atenderezza Bannabiikira olw’ Okusomesa n’Okuteeka Empisa mu Baana n’ Abakkiriza

Gambuuze by Gambuuze
January 8, 2025
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro  Mayiga Atenderezza Bannabiikira olw’ Okusomesa n’Okuteeka Empisa mu Baana n’ Abakkiriza
0
SHARES
33
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Masaka – Buddu

Katikkiro Charles Peter Mayiga atenderezza  omulimu ogukolebwa Abasiisita Bannabiikira nga basomesa abakkiriza n’abaana, okubasigamu empisa nga babalyowa emyoyo wamu n’okubanyigiza mu mirimu egikulaakulanya.

Obubaka buno, Katikkiro Mayiga abuweeredde mu kigo Ky’AbasiIsita e Bwanda ku mukolo Sr. Mary Adeodate Nalukwago kwajaguliza emyaka 50 ne Bannabiikirwa abalala nebakuba ebiragaano eby’olubeerera okuweeraza Omukama ku Lwokusatu mu mmisa ekulembeddwamu Omusumba w’essaza lye Masaka, Serverus Jjumba.

Kamalabyonna Mayiga ayozaayozezza abajakugaza nabakubye ebiragaano olw’okwewaayo nebeeresa obufumbo ne basalawo okuweereza Katonda.

Katikkiro agamba nti bano tebakoma kulyowa myoyo kyokka, wabula bagunjula abantu mu mpisa ez’obuntubulamu nga babasomesa mu by’eddiini n’empisa ez’Ensi.

Owek. Mayiga agamba nti newankubadde ensangi zino waliwo abantu abasiiwuse empisa, naye abo be batono, kale n’asaba abasisita okugenda mu maaso n’omulimu ogw’ettendo gwe bakola, Ensi ejja kwongera okulongooka.

Owek. Mayiga mungeri y’emu asabye abakulembeze ku mitendera eggyenjawulo okwewaayo batuukirize obuvunaanyizibwa bwabwe okusinga okweswaza nga bakola ebitalimu nsa.

Bw’abadde ayigiriza, Omusumba Serverus Jjumba yeebaziza Ababiikira abakubye ebiragaano olw’okwewaayo okuweereza Omukama naabakubiriza  okubinywererako mu mbeera yonna gyebasanga.

Omusumba Jjumba bwatyo akubiriza abantu obutaggwamu ssuubi newankubadde  ensi ejjudde ebisoomooza naye bulijjo banywerere mu Katonda okusobola okubiwangula.

Nankulu w’Ekigo ky’ Ababiikira e Bwanda, Sr. Mother Noeline Namusoke abakubiriza Abasiisita abakubye ebiragaano okubinywererako olwo basobole okufuna empeera ebagwanidde.

Ye Omujaguza Sr. Mary Adeodate Nalukwago kulw’ Abajaguza b’olunaku yeebaziza nnyo katonda olw’okubalonda mu bangi bamuweereze, nebasaba abakiriza okwongera okubassa musaala.

Kitegeerekese nti Ababiikira abalala 7 bajaguza emyaka 60, abalala 3 n’ebajaguza emyaka 50 ate  6 nebajjaguza emyaka 25 bukyanga bakuba ebiragaano by’okuweereza n’okutambulira mu Mukama.

Omukolo guno gwetabiddwamu Abakkiriza mu biti ebyenjawulo okuli;  Omumyuka Ow’Okubiri owa Pookino, bannabyabufuzi, bannadiini n’ abantu abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist