
Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga agamba nti munnamawulire yenna ateekwa okubeera omumanyi era nakola omulimu gwe n’obukugu bwaba ayagala okugenda mu maaso.
Obubaka buno Kamalabyonna Mayiga abuweeredde ku kabaga k’Obwakabaka akabaawo buli mwaka okwebaza bannamawulire abasaka ag’Embuga olw’emirimu gye bakola.
Katikkiro Mayiga asinzidde wano naakubiriza bannamawulire bulijjo okwewala amawulire agasasamaza kubanga tegabeerera wabula bafube okutuusa ku bantu amawulire amatuufu ge bakozeeko okunonyereza n’okusengejja olwo n’abantu lwe bajja okubeesiga n’okugoberera bye bakola.
Mu ngeri y’emu abasabye okufaayo ennyo okugatta ku bye bamanyi nga bongera okusoma n’okunonyereza ku bintu eby’enjawulo.
Mukuumaddamula era ategeezeza nti 2024 abaddemu ebisoomooza bingi mu Bwakabaka naddala mu biseera nga Kabaka weyabeerera wabweru w’Eggwanga, era yebazizza bannamawulire abagoberera obubaka obwavanga Embuga era ne batuusa ku bantu amawulire amatuufu.

Minisita w’Amawulire, Owek. Israel Kazibwe Kitooke yebazizza bannamawulire bano olw’okutuusa ku bantu ebifa Embuga n’okusoosowazanga ensonga za Buganda.
Owek. Kitooke abakubirizza obuteesigama ku mulimu guno gwokka wabula bafube n’okutandikawo n’okwenyigira mu mirimu emirala, bwe bafuna ssente baterekereko olwo basobole okwekulaakulanya.

Ku kabaga kano, bannamawulire bakwasiddwa ettu lya Ssekukulu okubasiima, kyokka Katikkiro abajjukiza okwewala obulwadde bwa mukenenya mu kiseera kino eky’eggandaalo, era abewazizza n’ettamiiro mu biseera bino.









