Bya Shafik Miiro
Mengo – Kyaddondo
Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambizi n’Ebyokwerinda mu Bwakabaka, Owek. Anthony Wamala asabye abantu bulijjo okufaayo okuwandiika ebibakwatako kiyambe okukuuma ebyafaayo n’omukululo gwabwe mu butuufu bwago.
Obubaka buno, Minisita Wamala
abuwadde akiikiridde Katikkiro Mayiga mu kutongoza ekitabo “Prof. William Ssenteza Kajubi: The man of his Legacy” ng’omukolo guyindidde ku kitebe ky’ekitongole ky’Ebyobulambuzi n’Obuwangwa mu Buganda ku Lwokuna.
Owek. Wamala agamba nti waliwo abantu bangi abakoze ebintu eby’enkizo ebisobola okuyigirwako abantu abalala ne basobola okukyusa obulamu bwabwe, kyokka bwe bitawandiikibwa kizibuwala abantu okubimanya.
Ku nsonga eno kw’asinzidde n’asaba abantu okuwandiika ebitabo okukuuma ebyafaayo.
Owek. Wamala yeebazizza Dr. Jones Kyazze, omuwandiisi w’ekitabo kino, olw’okwolesebwa kwe yafuna n’ateeka ebyafaayo bya Prof. Kajubi mu buwandiike.
Akubirizza abantu okusoma ekitabo kino okubaako ebintu eby’enjawulo bye bamuyigirako.
Omuwandiisi w’ekitabo kino Dr. Jones Kyazze agamba nti okuwandiika ekitabo mulimu munene, kyokka tewali ssanyu kusinga kumanya nti waliwo abaganyulwa mu byowandiise.
Dr. Kyazze yebazizza bonna abamukwatiddeko okuggusa eddimu ly’okukuŋŋanya n’okuwandiika ebyafaayo bya Prof. Kajubi kubanga omulimu gweyakolera eggwanga munene ogujja okusigala nga gujjukira ekiseera kyonna.