
Bya Shafik Miiro
Kimaanya – Buddu
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu okumanya nti obutebekenvu bw’amaka gwe musingi okuyimirira enkulaakulana eggwanga nerisobola okugenda mu maaso.
Okwogera bino Kamalabyonna abadde yeetabye mu kijaguzo eky’emyaka 25 mu bufumbo egya George Ssekamanya Nkonge ne Beatrice Nassuuna mu ekelezia ya Blessed Sacrament Kimaanya e Masaka mu Buddu.
Owek. Mayiga agambye nti obutebenkevu bw’amaka y’ensulo efukirira empisa n’obuntubulamu mu baana, era nti abaana ab’ensa be bokka abasobola okuzza Buganda ku ntikko.
Ono agattako nti amawanga nga China agakulaakulanira ku misinde, emu ku nsonga ebatuusa ku kino kwe kuba nti abafumbo e China bakuuma nnyo amaka gaabwe era ne bakuza bulungi abaana nga babayigiriza n’emirimu egikolebwa bazadde baabwe.
Mayiga ayongeddeko nti China okuba nga kati evuganya ensi nga America n’endala mu Bulaaya kubanga eno waliyo obutabanguko mu maka bungi ekikalubya enkuza y’abaana n’okubateekateeka obulungi.
Katikkiro Mayiga bwatyo akubirizza abafumbo okunogera ebisoomooza eby’enjawulo eddagala basobole okuwangaalira awamu olwo bakuze abaana nga babalambika okubawa ebinaabagasa mu bulamu ate nabo okugasa Eggwanga lyabwe.
Wano weyeebaliza abajaguza olw’okuwangaalira awamu era ne bakuza bulungi n’Abaana baabwe.
Abaagaliza okwongera okubeeragana n’okuteekateeka ebirungo mu mukwano gwabwe bongere okuwangaalira mu ssanyu.
Rev. Fr. Dr. John Baptist Kaganda nga ye mukwanaganya w’emirimu ku lukiiko olutaba abeepisikoopi mu Uganda era ng’ayakulembeddemu mmisa, akubirizza abafumbo bulijjo okuteeka essira ku kukuuma n’okunyweza amaka gaabwe ng’agamba nti amaka gwe musingi okuzimbirwa Eggwanga, eddiini n’Ensi okutwalira awamu.
Rev. Kaganda asabye abazadde okubeera eky’okulabirako ekirungi eri abaana baabwe ng’agamba nti kyenyamiza nti waliwo amaka mwotuuka ng’abaana tebegomba kufuna baagalwa bafaanana bazadde baabwe olw’ebyo bye balaba bakola, era agamba nti emu ku nsonga etiisa abavubuka okuyingira obufumbo ensangi zino by’ebyo bye bawulira ababulimu bye bakola. Bwatyo akalaatidde abafumbo okwekebera balongoose ebikolwa byabwe.
Abajaguza George ne Beatrice bazzeemu okukuba ebiragano, okwongera okukuumagana n’okubeeragana ebbanga ly’obulamu bwabwe lyonna wakati mu ekelezia ebadde ekubyeko abantu omubadde Pookino Owek. Jude Muleke, Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, Bannaddiini, abakulembeze mu Gavumenti eyawakati n’abantu ba Katonda abalala.









