
Bya Shafik Miiro
Serena – Kampala
Obwakabaka bwa Buganda bwebazizza omuyimbi Lord Fred Ssebatta olw’okutumbula Obuwangwa, olulimi are n’okusomesa n’okuyigiriza abantu awatali kwesitazza muntu yenna.
Obubaka buno bubadde mu kwogera kw’Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Twaha Kaawaase Kigongo bw’abadde ayogerako eri abawagizi ba Ssebatta abakungaanidde mu Serena Hotel ku Lwokutaano akawungeezi ng’ ajaguza emyaka 42 nga ayimba.
Prof. Kaawaase asabye Ssebatta n’abayimbi abalala abamufanana babeere ennyonyi enkulu eyigiriza ento okubuuka, bakwate ku bayimbi abajja okulambika baleme kukola byesittaza na kuwemula awamu n’okuyimba ebitalina makulu.

Wano era asabye abayimbi baleme kukoma kuba ndongo kyokka wabula beekulaakulanye nga basiga ensimbi mu bintu eby’enjawulo.
Abakuutidde okwenyigira mu bukulembeze bongere okuzimba Eggwanga lyabwe, nabo okugenda mu maaso.
Owek. Kaawaase yawerekeddwako, Minisita Mayanja Nkalubo, Minisita Israel Kitooke, Ssaabaganzi Robert Ssekitooleko awamu n’abakungu abalala mu Bwakabaka.
Bbo abantu abeetabye mu kivvulu kino beebazizza Ssebatta olw’okukuuma omutindo era nebamusaba ayambeko okulambika abavubuka abato naddala ku nkozesa y’Olulimi nga bakola omulimu gwabwe.










