
Bya Shafik Miiro
Busimbi – Ssingo
Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era Minisita w’Okusiga Ensimbi mu Bwakabaka, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, Minisita w’Ebyobulamu Owek. Choltilda Nakate Kikomeko n’ababaka b’Olukiiko lwa Buganda ku kakiiko k’Ebyensimbi n’ak’Ebyobulamu balambudde amalwaliro g’Obwakabaka agazimbibwa mu masaza ag’enjawulo nebatendereza omulimu gw’ebyo ebikoleddwa.
Bano okulambula bakukoze ku Mmande era bakutandikidde Busimbi mu Ssingo ng’eno baaniriziddwa Mukwenda Deo Kagimu n’oluvannyuma neboolekera e Mukungwe mu Buddu.
Bw’abadde alambula eddwaliro lya Muteesa II ku mbuga y’Eggombolola Busimbi, Owek. Robert waggwa Nsibirwa, yeebaza ebyakakolebwako era neyeebaza Yinginiya Micheal Kiganda okusobozesa omulimu guno okukolebwa negutuuka ku bitundu 90 ku buli 100.
Owek. Waggwa ategeezezza nti omulimu gutambudde bulungi era bakutandika okufuna ebyuma ebinakozesebwa olwo eddwaliro liggulwewo.
Ono ayanjudde nti ku ddwaliro lino bajja kuba bagattako ebizimbe ebirala nga abakyala webazaalira n’ebirala okutumbulira ddala eby’obulamu mukitundu kino.
Omuwanika Nsibirwa yeebazizza Abaami abakuumye ettaka era naalabula abo abeesomye okulibba.

Minisita w’ Ebyobulamu mu Bwakabaka, Owek. Cotildah Nakate Kikomeko, agambye nti amasaza gonna gakufuna amalwaliro g’Obwakabaka wabula basoose kuzimbako gano asatu naye n’ebintu ebirala byakufuna kisobozese okwanguya eby’obujjanjabi.
Amyuka Ssentebe w’ Akakiiko k’Ebyensimbi mu Lukiiko, Owek. Mulwana Kizito ategeezezza nti balambudde enteekateeka eno mu masaza asatu omuli Kyaggwe, ssingo ne Buddu era omulimu guwa essuubi kubanga mu bbanga eritasukka mwaka abantu bajja kuba batandise okweyambisa amalwaliro gano.
Owek. Mulwana agasseeko ntu kyebaliko kwekuteeka ekiragiro kya Beene mu nkola nga baggya ebintu mu biwandiiko babiteeke mu nkola mu ngeri y’okunnyikiza federo ey’ebikolwa.
Ono yeebazizza abantu ba Kabaka olw’okuwaayo ensimbi kubanga zino zeezikozesebwa okuyimirizzaawo emirimu gya Nnyinimu.

Omwami wa Kabaka amulamulirako essaza Ssingo, Mukwenda Deo Kagimu yebazizza nnyo Obwakabaka olw’okusitukiramu nebulwanilira ettaka eryazimbibwako eddwaliro eryali lyesenzezaako banakigwanyizi era neyebaza olw’omulimu gwokuzimba ogukoleddwa.
E Buddu, Ppookino Jude Muleke ategeezezza abakulu nti ekikoleddwa kyakutumbula eby’obulamu kubanga bibasemberezeddwa kumpi ate nga balina essuubi nti abaana enzalwa abakuguse mu busawo bajja kufuna emirimu neyeebaza olw’okusitula ekitiibwa ky’ Eggombolola eno.
Asabye eby’obufuzi biggyibwe mu by’obulamu kubanga enteekateeka za Buganda zonna zireetebwa kuganyula bantu bano.









