
Bya Ssemakula John
Kalamba – Butambula
Omukulu w’Ekika ky’Enseenene, Omutaka Kalibbala Nsozi akubirizza bazzukulu be okujjumbira emirimu gy’Ekika bakiyambe okulaakulanya era kyanguyirwe okubakumaakuma.
Omutaka Kalibbala obubaka buno abuweeredde Kiryanyonza mu ggombolola Mumyuka Kalamba mu Butambala bw’abadde agenze okulambula ku bazzukulu be abasibuka mu ssiga lya Kalanzi.
Kalibbala Nsozi agambye nti abazzukulu bakola kinene okuyimirizzaawo emirimu gy’Ekika nga bawaayo ensimbi enkalu wamu n’obukugu obubeera bwetaagisizza ku nsonga ez’enjawulo.
Ono akuutidde bazzukulu be okukuuma obumu era bafeeyo okujjumbira enkiiko awamu n’emikolo nga okumanyagana olwo lwebajja okugenda mu maaso n’okwongera okutegeera Ekika kyabwe.
yaliko Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda era omukuza w’Omutaka Kalibbala, Owek. Nelson Kawalya akubirizza bazzukulu ba Kalibbala okufaayo okulongoosa Embuga z’Amasiga n’ebifo by’Ekika ebirala bituukane n’Omutindo.

Ow’Essiga lya Kalanzi mu Lugo, Omutaka Ssewanyana Edward yebazizza Omutaka ow’Akasolya Kalibbala, olw’okubakyalirako era asinzidde wano n’asaba abazzukulu ba Kalibbala okwongera okubeera obumu, Ekika kyongere okuggumira.
Omwami wa Kabaka akukulembeera eggombolola ya Mumyuka Kalamba Omw. Kibalama Muhammad asabye abantu okugoberera ennambika ya Ssaabasajja kukulwanyisa obulwadde bwa mukenenya, basobole okubeera n’obulamu obulungi olwo ne Buganda esobole okudda ku ntikko.









