
Bya Gerald Mulindwa
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye Abavubuka mu Bwakabaka abalina Obukugu obw’enjawulo okubeera abagumiikiriza olwo lwebanaafuuka abawanguzi mu bye bakola.
Obubaka buno, Owek. Mayiga abuwadde ku Lwakutaano ng’ asisinkanye Abavubuka abalina Obukugu mu bisaawe ebyenjawulo mu Bulange e Mengo wansi w’Omulamwa ogugamba nti “Obuvunaanyizibwa bw’abavubuka abalina Obukugu mu Buganda gye twegomba.”
“Omuvubuka anaawangula takola mirimu kutuusa mukolo wabula alina kukola nga yewaddeyo ate wakati mu bwerufu n’okwagala,” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.
Kamalabyonna Mayiga akalaatidde abavubuka okweteekerateekera nga bakyali mu myaka emito basobole okuwangaalira mu bulamu obulungi. Ono agamba omuntu atakozesa buvubuka bwe kwetegekera, obukadde bumumenya nnyo.
Katikkiro agambye nti ebisinga okutawaanya Abavubuka kwekwagala okufuna eby’obugagga eby’amangu nebatafa ku mikisa giva mu bugumiikiriza.
Owek. Mayiga mu ngeri eyenjawulo asabye Abavubuka abalina Obukugu mu bye bakola okubukozesa Obulungi betunde mu nsi eno, baleme kutuuka ku buwangizi nga balowooza bya magero.
Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Sserwanga, asabye abavubuka okubeera ekitundu ku kuzzaawo essuubi lya Buganda, olw’ Obwakabaka budde ku ddaala eddala.
Ssentebe w’Abavubuka mu Bwakabaka Baker Ssejjengo, asabye Abavubuka mu Bwakabaka okukulembeza Okwagala n’Obwesigwa mu bye bakola olwo ebirala bibagoberere.

Eyakulidde olukiiko olutegese ensisinkano eno, Dr Aiden Micheal Ssettabi, asabye abavubuka abalina obukugu obwenjawulo okulowooza okukolagana n’Obwakabaka era beenyigire mu nteekateeka zabwo kubanga bulina abakugu ab’engeri zonna.
Ensisinkano yetabiddwamu; Ssenkulu wa Kabaka Foundation Omuk. Edward Kaggwa Ndagala, Oweek. Rev. Elijah Kyobe, Oweek. Namukasa Harriet, Oweek. Ann Namayanja Kigudde, Oweek. Ivan Mukasa, ne munnamateeka wa cbs Vivian Namale.
Zino ze zimu ku nteekateeka z’okunnyikiza obuweereza n’obukulembeze bw’abavubuka mu bwakabaka mu buufu bwa Ssaabasajja Kabaka obw’okuwa omulembe guno abavubuka.










