• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Minisita Kazibwe asabye Gavumenti erongoose omulimu gw’obuvubi kiyambe abali mu bizinga

Gambuuze by Gambuuze
November 29, 2024
in Amawulire
0 0
0
Minisita Kazibwe asabye Gavumenti erongoose omulimu gw’obuvubi kiyambe abali mu bizinga
0
SHARES
15
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya  Shafik Miiro

Bulange – Mmengo

Minisita w’Obwakabaka ow’ Amawulire n’Okukunga era omwogezi wa Buganda, Owek. Israel Kazibwe Kitooke okutereeza omulimu gw’obuvubi kitereeze embeera y’ abantu abawangaalira mu bizinga.

Okusaba kuno Owek. Kazibwe akukoze atikkula abantu abavudde mu bizinga by’e Buvuma ne Ssese awamu n’abalala okuva e Busoga Oluwalo olusobye mu bukadde 26 e Bulange ku Lwokutaano kulwa Katikkiro.

“Omulimu gw’Obuvubi gutaataganyiziddwa nnyo era ne Ssaabasajja yasaba Gavumenti okugulungamya obulungi  awatali kulumya bagukolamu wadde okubafiiriza ebintu byabwe” Owek. Kazibwe.

 Owek. Kazibwe annyonnyodde nti ebifo by’omubizinga bikyasoomoozebwa ebintu eby’enjawulo mu byobulamu, ebyenjigiriza n’ebyenfuna by’agambye nti abakulembeze ku mitendera gyonna balina okukwatira wamu okulaba nti embeera y’obulamu bwa Bannabizinga ekyuka.

Minisita Kazibwe agamba wadde  waliwo envuba embi, naye n’engeri amateeka gye gakwasibwamu ssi nnungamu era yetaaga kulongoosebwa.  Wano asabye  Gavumenti mu kifo ky’okukwata n’okuwamba ebikozesebwa abavubi, yo eteeke ebyo ebituufu ku katale era ku bbeeyi esoboka eri ababyetaaga.

Ono asabye abakulembeze ku mitendera gyonna okusitukiramu ku byenjigiriza n’ebyobulamu mu bizinga, alaze obwennyamivu nti ne ku mulembe Omutebi abantu bakyalemererwa okuzimba kaabuyonjo ne basalawo okweyamba mu nnyanja ky’agambye kikolwa kya bugayaavu ate kikosa obulamu bwabwe.

Abawangaalira mu bizinga abasabye okukkiriza abaana basome era babafunire ne ssikaala z’Obwakabaka baleme kubatwala kuvuba nakwanika Mukene kiyambe okubawa omukisa okufuna ebiseera by’omu maaso ebitangaavu.

Owek. Kazibwe yeebazizza Abaami ba Kabaka olw’omulimu gwe bakola mu bantu ba Nnyinimu omuli n’okubakumaakuma okuleeta oluwalo, era ategeezezza nti Obwakabaka nga buyita mu nsimbi zino bwakugenda mu maaso n’okutuusa empeereza ez’enjawulo ku bantu b’Omutanda okulaba ng’embeera z’obulamu baabwe zikyuka.

Akulembeddemu abantu bano era Omwami w’Essaza Buvuma,  Mbuubi Mbowa Micheal Wamala yeebazizza abantu ba Kabaka omuli n’abakulembeze mu Gavumenti eyawakati olw’okujjumbira enteekateeka ya ‘Luwalo Lwaffe’ ky’agambye kyongera okulaga obumalirivu bw’abantu ba Buganda okuwagira emirimu gya Gavumenti ya Ssaabasajja

Ono aloopedde Katikkiro okusoomoozebwa ku nsonga z’ettaka naddala  ku Mbuga z’Eggombolola era asabye aba Buganda Land Board okuvaayo babayambeko okugonjoola ensonga, kisobozese Abaami ba Kabaka okutambuza obulungi emirimu, awatali kutaataganyizibwa.

Abalala abakiise embuga kubaddeko; Omwami w’Essaza Ssese, Kweba Augustine Kasirye n’Omumyuka we Omuky. Namubiru Suzan, Hon. Kabuusu Moses akiikira ggombolola Kabuswa, Abamyuka Mbuubi, Abaami ab’eggombolola n’Emiruka n’abantu ba Kabaka abalala.

Eggombolola ezikiise Embuga kuliko; Mumyuka Bugaya, Ssaabaddu Busamuzi, Ssaabagabo Nayirambi, Ssaabaawali Bweema, Musaale Ssejja, ate e Ssese wavuddeyo;  Musaale Bubeke, Ssaabaawali Bufumira, Ssaabaddu Mugoye, Mut.II Kalangala, Bujumba n’Essaza lya Busoga.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.