
Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Minisita w’Abavubuka n’Ebitone mu Bwakabaka, Owek. Robert Sserwanga Ssalongo akalaatidde abazadde okukuuma abaana baabwe mu kiseera kino eky’oluwummula oluwanvu n’okubaako byebabayigiriza oluwummula luleme kubasala.
Bino Owek. Sserwanga abitegeezezza abantu ba Kabaka okuva mu Ggombolola nnya (4)okuli; Bulera Ssingo, Bukoto Buddu, Buwunga ne Butuntumula, ezireete oluwalo ku mbuga enkulu e Bulange e Mengo ku Lwokubiri bw’abadde akiikiridde Kamalabyonna.
Owek. Robert Sserwanga alabudde abazadde ku kabaate akali mu kwesuulirayo ogwannaggamba ku kulabirira abaana babwe kubanga waliwo abalinze okubaggya ku mulamwa.
Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Joseph Kawuki asabye gavumenti okukola enguudo ziyambeko abalimi mu byalo okutuusa ebirime mubutale, embeera yabwe esobole okukyukamu.

Owek. kawuki yeebazizza abantu ba Kabaka olw’obumu bweebakozesa mu kujjumbira enteekateeka z’ Obwakabaka.Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu mu Buganda Owek. Joseph Kawuki asinzidde wano ne yebaza abantu ba Kabaka olw’okujjumbira okuwaayo oluwalo, era abakubiriza okwongera okubeera Obumu ng’abantu ba Kabaka bakolere wamu mu mbeera zonna olwo Buganda ejja kwongera okusituka.
Ssentebe wa NRM mu Buganda, Godfrey Kiwanda Ssuubi, agumizza abantu ba Kabaka nti ebiriwo ku Mmwanyi tebibatiisa naabakubiriza okusigala nga balima emmwaanyi bakyuse obulamu bwabwe.
Mu luwalo lwa leero ensimbi obukadde obusobye mu 46 bwebuleeteddwa nga eggombolola ye Butuntumula yesinze nensimbi obukadde 18, Bulera obukadde 14,Bukoto obukadde 8, ate Buwunga nereeta obukadde 5 era abakize ku bannabwe baweereddwa ebbaluwa ezibeebaza.









