• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Owek. Mayiga alambudde essomero lya Bbowa Vocational, asabye abasomesa okubeerera abayizi abazadde

Gambuuze by Gambuuze
November 22, 2024
in Agafa e Mengo, Ebyenjigiriza
0 0
0
Owek. Mayiga alambudde essomero lya Bbowa Vocational, asabye abasomesa okubeerera abayizi abazadde
0
SHARES
30
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bbowa – Bulemeezi

Mukuumaddammula  Charles Peter  Mayiga akubiriza abasomesa okubeera abazadde eri abayizi bebasomesa abateeketeeke bulungi kubanga bebazadde abasookerwako era eggwanga erijja kweriyimiridde.

Bino  Owek. Mayiga abyogeredde Bbowa mu Bulemeezi ku Ssomero lya Ssaabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi II li Bbowa Vocational Secondary School bwabadde alirambula ku Lwokutaano okulaba emirimu bwegitambula era ayaniriziddwa Minisita w’Ebyenjigiriza, Owek. Chotildah Nakate Kikomeko ne Kkangaawo  Ronald Mulondo n’abakulira essomero lino.

“Omusomesa mpagi nkulu nnyo mu kukulaakulana kw’essomero n’Eggwanga kubanga ebyo by’asiga mu bayizi ne by’abayisaamu bye bivaamu obwesige eri essomero abantu ne bongera okutwalayo abaana era bizimba n’ebiseera by’Eggwanga ebyomumaaso abayizi bwe bavaamu obulungi,”  Kamalabyonna Mayiga bw’annyonnyola.

Ow’omumbuga  asabye abasomesa okukuuma ekitiibwa Ky’obusomesa era bayigirize abayizi empisa ekitiibwa ky’essomero lya Kabaka kiveeyo bulungi.

Kamalabyona asibiridde abayizi b’essomero lino entanda bwebaba baagala okufuuka ab’omuwendo munsi era abalaze ebintu  bina (4) byebeetaaga nga bakula okubeera ab’omugaso omuli ebyenjigiriza, obukugu, obulamu n’obuntubulamu.

Ono  abakulira  amasomero g’Obwakabaka wonna mu ggwanga  abakuutidde okumuuma ekitiibwa Ky’Obwakabaka nga beewala okukola ebikitatana.

Minisita  Chotildah Nakate Kikomeko yeebaziza abakulembera essomero olw’omutindo gwebalitaddeko bwatyo nakubiriza abayizi okwekuuma nga bulamu bulungi basobole okugasa ensi.

Ye Omwami wa Kabaka omulamulirako essaza lye Bulemeezi Kkangaawo omulangira Ronald Mulondo ajukizza abasomesa obuvunaanyizibwa bwabwe eri abayizi bwebaba baagala ebiseera byabwe ebyomumaaso bibabeerere bitangaavu n’essomero okuyitimuka.

Akulira Bowa Vocational Secondary School,  James Lubowa yeebazizza Kamalabyonna Mayiga olw’okubalambika entakera neyeeyama okukola kyonna okwongera okufuula essomero lino ery’ erinnya mu ggwanga lyonna.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist