• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obwakabaka busse omukago ne ECUREI, okwanguyiza abantu eby’obujjanjabi  

Gambuuze by Gambuuze
November 20, 2024
in Amawulire, Eby'Obulamu
0 0
0
Obwakabaka busse omukago ne ECUREI, okwanguyiza abantu eby’obujjanjabi  
0
SHARES
25
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Obwakabaka busse omukago ne Ernest Cook University () okujjanjaba abantu ba Buganda endwadde ku nsimbi entonotono kibayambeko okufuna eby’obulamu ebirungi basobole okulaakulana.

Omukolo guno guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu nga  Minisita w’Ebyobulamu mu bwakabaka,  Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko yataddeko omukono, ate kulwa ECUREI, Prof. George Kirya nateekako  nga Katikkiro Charles Peter Mayiga abaddewo ng’omujulizi.

Bw’abadde ayogerera ku mukolo guno Kamalabyonna Mayiga ategeezezza nti lino ekkubo ttuufu nnyo kubanga Beene ayagala abantu be nga balamu bulungi olwo Buganda edde ku ntikko.

“Ndi musanyufu okubeerawo ng’omujulizi nga tutongoza endagaano y’okutegeeragana wakati w’Obwakabaka ne Ernest Cook University. Tubadde tukolagana nabo okumala ebbanga ddene naye nga tetutongozanga nkolagana eyo,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.

Owek. Mayiga agasseeko nti oluvannyuma lw’okutongoza enkolagana eno kati buli ludda lutegedde ekyo ekirusuubirwamu kubanga obuweereza obukwata ku by’obulamu byebimu ku bintu ebisinga obukulu naddala eri abakulembeze mu Bwakabaka ne Gavumenti eyawakati.

Ono annyonnyodde nga bwebazze bakunga abantu okulya obulungi kubanga wadde bangi bakubirizibwa okukola nebabaako kebayingiza naye ate nebeerabira okulya obulungi kuba abasinga mu kino balowooleza mukulya nnyama nabisiike. Naye kati bongera okubakubiriza okusula obulungi era bakole ne dduyiro.

Kamalabyonna Mayiga alaze okusomoozebwa kw’ abantu  abagenda mu myoleso nebatandika okutegeeza abantu ku miti egiwonya endwadde eziwerera ddala naabasaba okwegendereza ensonga z’ebyobulamu era batuukirire abakugu okufuna ekituufu.

Alabudde abantu abanoonya obujjanjabi mu batalina bukugu okumanya nti layisi agula buwanana bwatyo neyeebaza aba ECUREI olw’okuvaayo bajjanjabe abantu ku nsimbi entonotono. Ono abeebazizza olwa sikaala zebawaddeyo okubangula abaana ba Buganda bafune obukugu okukebera endwadde ezisinga okutawaanya bannayuganda kubanga kuno kuwola bbanja.

Minisita w’Ebyobulamu  n’Embeera z’ Abantu mu Bwakabaka, Owek. Chotildah Nakate Kikomeko  ategeezezza nti endagaano eno nkulu nnyo kubanga ejja kusobola okusitula embeera z’abantu ba Kabaka nga babajjanjaba n’okubalambika mu by’obulamu.

Owek. Nakate agamba nti basuubira enkolagana ennungi mu mukago guno era talina kubuusabuusa nti enjuyi zombi wamu n’abantu ba Nnyinimu bakufunamu nga bafuna obujjanjabi obw’omutindo era obusoboka.

Amyuka Ssenkulu wa ECUREI (Ernest Cook University), Micheal Grace Kawooya ategeezezza nti balina bakukolagana bulungi n’obwakabaka mu by’obulamu n’ebyenjigiriza era bakutambulira wamu okulaba nti abantu ba Beene balamu.

Mw. Kawooya agamba nti bakukozesa Tekinologiya n’obukugu bwabwe okutuukiriza ebigendererwa by’omukago guno nga bakebera abantu ba Beene nga batandikira ku Kkansa era wano bakukebera abantu abawera lukumi buli mwaka, bagabe Sikaala eri abakozi mu malwaliro g’Obwakabaka okugatta ku bukugu bwebalina.

Omukolo guno gwetabiddwako abakungu ab’enjawulo okuva mu Bwakabaka wamu nemu Ttendekero lya ECUREI.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.