• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obwakabaka bwakuzimba ekyuma ekisunsula emmwaanyi n’okusiika kkaawa – Owek. Nsibirwa

Gambuuze by Gambuuze
November 14, 2024
in Amawulire
0 0
0
Obwakabaka bwakuzimba ekyuma ekisunsula emmwaanyi n’okusiika kkaawa – Owek. Nsibirwa
0
SHARES
1.1k
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Bulange – Mmengo

Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa  akakasizza nga Obwakabaka bwebugenda okuzimba ekyuma ekisunsula emmwaanyi awamu n’ekyo ekisiika emmwaanyi mu ngeri y’okugatta omutindo ku kirime kino.

Ekyama kino Owek. Nsibirwa akibikulidde mu Bulange e Mmengo bw’abadde atikkula Oluwalo kulwa Katikkiro okuva mu e Bugerere, Butambala, Ssingo, Abaluŋŋamya b’emikolo, Bannakisinde ki DP block n’abayizi ba MUMSA High School ku Lwokuna.

“Obwakabaka bwafunye ettaka eryawereddwa ekitongole kya Mwanyi Terimba Limited e Nakisunga ewagenda okuzimbibwa ekyuuma ekisunsula emmwanyi n’ekisiika kaawa okwongera okugatta omutindo ku mmwanyi,” Oweek. Waggwa Nsibirwa bw’annyonnyodde.

Oweek. Waggwa ategezeeza nti Gavumenti ya Ssaabasajja ekubiriza abantu bonna okwongera okulima emmwaanyi era waliwo enteekateeka ez’okwongera amaanyi mu kitongole ky’Obwakabaka eky’obulimi ekya BUCADEF.

Omuwanika Nsibirwa akunze abantu ba Buganda okubeera abagezigezi baleme kuggyibwa ku mulamwa naye balemere ku kulima emmwaanyi era  bafube okukuuma omutindo gwazo kubanga eno y’ enteekateeka ya Buganda kwesibidde era kizuuliddwa nti ly’ ekkubo erisobola okuggya abantu ba Nnyinimu mu bwavu.

Ono era abasabye ekirime kino okukitwala nga kyabwe okufaananako n’ebisolo byebalina era bafeeyo  okunyweza omutindo gwazo ekiseera kyonna kubanga emmwaanyi terina gyelaga.

Owek. Waggwa alambuludde nti ebbeeyi ya Kase yaliko ku Silingi 3000, 5000 ne 15000 wabula mu byonna ekifuga obulamu ze ssente ezaabuliwo bwatyo naabewaza okuva ku mmwaanyi kuba bajja kumaliriza bafuuse abalomba.

Bino webijjidde nga Palamenti yakamala okuggyawo ekitongole ekibadde kivunaanyizibwa ku mmwaanyi ki Uganda Coffee Development Authority (UCDA) nekizza wansi wa Minisitule y’Ebyobulimi wakati mukuwakanyizibwa bannansi n’ebitongole ebyenjawulo nga bitya nti omutindo gwazo guyinza okuddirira.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist