• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Owek. Waggwa Nsibirwa asabye bannabyabufuzi okugumikiriza abo bebaawula endowooza

Gambuuze by Gambuuze
November 14, 2024
in Agafa e Mengo
0 0
0
Owek. Waggwa Nsibirwa asabye bannabyabufuzi okugumikiriza abo bebaawula endowooza
0
SHARES
76
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Bulange – Mmengo

Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asabye ab’ekisinde ki DP -BLOCK  ne bannabyabufuzi bulijjo okugumiikiriza abantu abo bebawukana nabo mu ndowooza kubanga abantu bonna tebasobola kubeera na ndowooza efaanagana.

Obubaka buno abuweeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna bw’abadde atikkula Oluwalo lwa bukadde 43 okuva e Bugerere, Butambala, Ssingo, Abaluŋŋamya b’emikolo, Bannakisinde ki DP block n’abayizi ba MUMSA High School.

“Okuyingira mu bukulembeze obw’okuvuganya omanya nti ojja kubeera n’endowooza etafaanagana naya muno, omulimu gwo nga omukulembeze kubeera kumwogereza nakumumanyisa alabe ebintu mu ngeri yeemu naawe gy’obiramu,” Owek. Nsibirwa bw’alambuludde.

Bano abasabye okwewala okwewebuula n’okuvumagana naye battaanye ensonga ensi esobole okubagoberera era bakimanye nti obutakwatagana mu ndowooza gubeera musango.

Ono yeebazizza bannabyabufuzi bano olw’okuvaayo nebakiika embuga okuwagira emirimu gya Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.

Abalung’amya b’emikolo abasabye okuddibya enkola ya taata ne maama okuwerekera omwana ow’obulenzi nga agenda okwanjulwa kubanga kino kiweebuula Obuganda n’okutyoboola ennono n’obuwangwa era naabasaba obutakoma kulung’amya lulimi lwokka naye n’endabika.

Akiikiridde Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Joseph Kawuki, Owek. Noah Kiyimba ategezeeza nti mu kawefube w’okuzza Buganda ku ntikko, abantu ba Buganda bebalina okwerwanako okweggya mu kinnya era nga kino kikolebwa okuyita mu luwalo.

Minisita Kiyimba  agamba nti ensonga za Buganda tezikwata ku Katikkiro yekka wabula ku buli muntu ali mu Buganda okutuukiriza obuvunanyizibwa bwe bwatyo neeyebaza abaami ba Kabaka olw’okukulemberamu abantu okuleeta oluwalo n’abantu okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka.

Ye Omumyuka wa Mugerere, Hajj Bashir Ziraba Lutankome nga yakulembeddemu abakiise embuga olwaleero yeebaziza Ssaabasajja olw’okujjuza obukulembeze bwa Gavumenti ez’Ebitundu okuviira ddala ku byalo era nalabula abo abalumba Obwakabaka e Bugerere okikomya.

Ku mukolo guno, Owek. Waggwa awerekeddwako Owek. Noah Kiyimba, Owek. Michael Mulindwa Nakumusana, Owek. Hajj Bashir Ziraba Lutankome, Abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna, bannabyabufuzi, abakulu b’amassomero n’abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist