Bya Ssemakula John
Lubaga – Kyaddondo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abantu be okugenda mu maaso n’okulima emmwanyi era basigale nga bagitwala ng’ ensonga enkulu wadde ng’ekitongole ki Uganda Coffee Development Authority (UCDA) kyagyiddwawo.
Omutanda ategeezezza nti wadde ebiyiting’ana bingi naye emmwaanyi esigala yankizo ku nkulaakulana ya buli muntu n’Obwakabaka okutwaliza awamu era naakugobera ddala obwavu.
Obubaka buno Nnyinimu abutisse Omulangira David Kintu Wasajja bw’abadde yeetabye ku mukolo gw’okukuza Amazaalibwa ga Katikkiro eyawummula Eng. John Baptist Walusimbi ag’emyaka 80 akategekeddwa aba ‘Pope Paul the 5th Social club’ ku Pope Paul mu Ndeeba.
Beene era alagidde abantu be okunyweza Obumu,okukomya okwekubagiza,okwongera okukola enyo okweggya mu bwavu okusobola okunyweza obwakabaka.
Kabaka asiimye nnyo obuweereza bwa Katikkiro eyawummula Eng. JB Walusimbi eri obwakabaka bweyali Katikkiro nebwaweerezza wadde nga awummudde obwa Katikkiro.
Ku lulwe Omulangira David Wasajja atenderezza omukwano n’enkolagana Owek JB Walusimbi gyalina nabo naddala bweyali akyali mu buweereza nemu biseera nga awummudde obuweereza.
Omukolo gwetabiddwako abantu ab’enjawulo omuli bakatikiro abawummula okubadde Owek. Joseph Mulwanyamuli ssemwogerere, Owek. Dan Mukika, saako Ssaabaganzi Emmanule Ssekitoleko, eyali Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda Ow’ek.Nelson Kawalya, eyali omumyuka w’Omukulembeze w’Eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, ababaka ba Palamenti n’abantu abalala.
Ssentebe wa ‘Pope Paul 5th social club’ abakulembeddemu enteekateeka y’akabaga kano, Patrick Nsanja nga era mubaka wa Ntenjeru South ategeezezza nti baagadde okusiima Owek. Walusimbi olw’emirimu gyasobodde okukola Obuganda ne Uganda.
Omujaguza Eng. JB walusimbi yeebazizza nnyo bonna abamulaze Omukwano n’okumutegekera akabaga k’Amazaalibwa akamuweesezza ekitiibwa.
Omukolo gwetabiddwako abantu ab’enjawulo omuli bakatikiro abawummula okubadde Owek. Joseph Mulwanyamuli ssemwogerere, Owek. Dan Muliika, Ssaabaganzi Emmanule Ssekitoleko, eyali Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda Ow’ek.Nelson Kawalya, eyali omumyuka w’Omukulembeze w’Eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, ababaka ba Palamenti n’abantu abalala.