Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asitudde olwa leero naayolekera eggwanga lya South Africa okutongozza ttabamiruka agatta abantu ba Buganda ababeera mu mawanga ag’omu maserengeta ga Ssemazinga Africa bakolere wamu era beezimbe.
Owek. Mayiga agamba nti Ttabamiruka ow’engeri eno agendererwamu okunyweza obumu mu bantu abawangaalira ebweru wa Buganda, okubamanyisa ebifa eka baleme kwerabira buvo bwabwe ate n’okubakubiriza okukolera awamu okwezimba.
Mukuumaddamula agambye nti guno mukisa munene eri abawangaalira mukitundu kino okumanya ebifa e Buganda baleme kuwubisibwa era kiyambe n’okubanyweza mu nnono n’obuwangwa, ensibuko n’emirandira wadde bali ku mawanga .
Ono agattako nti Ttabamiruka ono agenda kugatta abantu okuva mu mawanga nga; South Africa, Zambia, Namibia, Mozambique, Botswana, Eswatini n’amalala era wakumala ennaku 2 bonna basobole okutambulira awamu ku nsonga za Buganda.
Enteekateeka eno etegekeddwa wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Obumalirivu bw’abantu ba Kabaka ababeera e Bunaayira okulwanirira Nnamulondo n’okwezimba bya nkizo mu kunyweza Obwakabaka.”
Okusinziira ku Kamalabyonna, Ttabamiruka w’ekika kino yatandika emyaka 9 emabega nga atandikira mu Amerika, Canada, Bulaaya n’ewalala era avuddemu ebibala ebitali bimu.