• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obwakabaka busanyukidde ekya Kkooti okuyimiriza bannakigwanyizi abasalimbira ku ttaka ly’embuga ya Ssingo

Gambuuze by Gambuuze
November 5, 2024
in Amawulire
0 0
0
Obwakabaka busanyukidde ekya Kkooti okuyimiriza bannakigwanyizi abasalimbira ku ttaka ly’embuga ya Ssingo
0
SHARES
29
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kiboga – Ssingo

Obwakabaka busanyukidde ekiragiro kya kkooti enkulu e Kiboga mweyimiriiza mbagirawo bannakigwanyizi ababadde beesomye okutwala ettaka ly’Obwakabaka kwebwazimba eddwaliro omuzalira abakyala e Kiboga mu ssaza lye Ssingo.

Kkooti okuyisa ekiragiro kino kidiridde Obwakabaka okugenda  mu kkooti okwekubira enduulu mu eri bannakigwanyizi abali beesomye okutwala ettaka lino nebatuuka n’okusitulako bizimbe kwosa okutemateemamu poloti nebatandika okwagala okuzitunda.

Minisita wa kabineeti  n’emirimu egyenjawulo mu woofisi ya Katikkiro, Owek. Noah Kiyimba ategeezezza nti kkooti okutuuka okuyisa ekiragiro kino kidiridde okukizuula nti wabaddewo okupapirira eri ababadde baagala okukulakulanya ettaka lino .

Owek.Kiyimba agamba nti omuwawabirwa David Nsubuga nebakolagana nabo mungeri ey’olukwesikweesi nebakola ebyapa mu ttaka ly’Obwakabaka olwo nebatundako Poloti n’okuzimbako ebizimbe.

Kiyimba agattako nti ettaka lino  lyerimu kwebyo ebyakomezebwawo gvumenti eya wakati  eri Obwakabaka mundagaano gyebakola mu mwaka 2013.

Minisita Kiyimba asinzidde wano naalabula abantu bonna obutetantala kugula ttaka lyebatasoose kufunako kumanyisibwa kutuufu ku ttaka lyonna okwewala okuferebwa banakigwanyizi abenjawulo.

Ettaka elyogerwako liweezako yiika nnya era liri ku ‘Block’ 655 Poloti 218 nga lisangibwa mu Ttawuni kkanso y’ekibuga  mu ssaza lya Beene elya Ssingo era ng’Obwakabaka ettaka lino bwalifuna mu mwaka gwa 1920.

Bino webijjidde ng’ Obwakabaka buzimba ebizimbe ku ttaka lino omuli  eddwaliro ewazaalira abakyala n’ ebizimbe ebirala ebikozesebwa kati Ttawuni Kkanso y’e Kiboga ne disitulikiti .

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist