
Bya Musasi Waffe
Kampala – Kyaddondo
Katikkiro wa Buganda ategeezezza nti Obwakabaka bwa Buganda buwagira enteekateeka yonna egendereddwamu okuteekawo emirembe n’okulwanyisa obukubagano naddala obutuukawo mu biseera by’okulonda.
Obweyamo buno, Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa abutisse Sipiika Patrick Luwaga Mugumbule amukiiikiridde mu lukuŋŋ’aana lw’okukubaganya ebirowoozo n’okuteeka emikono ku ndagaano ey’okukuuma emirembe mu Ggwanga mu biseera by’akalulu olubadde ku Sheraton Hotel ku Lwokutaano.
“Tuzze okusisinkana n’okuteeka omukono ku ndagaano ey’emirembe wakati ng’okulonda kubindabinda. Twagala okulaba nti emirembe tugituuseeko tutya mu buli maka n’ ebitongole ebyenjawulo. Tuluubirira okulaba nti obukubagano obubeerawo tusobola okubwewala,” Owek. Mugumbule bw’annyonnyodde.
Nsibirwa agambye nti Buganda okuwaayo obweyamo okukuuma emirembe n’okuteeka omukono ku ndagaano eno kabonero ak’oleka nti bannayuganda baagala emirembe n’obutebenkevu era Obwakabaka buwagira enkola yonna ewagira okwogerezeganya n’okutangira obutali butebenkevu bwonna obuyinza okugwawo.
Obwakabaka era busiimye ekitongole ki USAID ne International Republican Institute, Inter Religious Council naba National Consultative Forum olw’okutumbula emirembe n’okuteekawo obumu nga babangula abantu kwebyo ebivaako obukubagano.
Buganda era egamba nti Uganda erimu abantu ab’amawanga n’enzikiriza ez’enjawulo ekireetawo enjawukana ekireetawo obunkenke n’okwawula mu bantu. Okusinziira ku Buganda kino kiteekawo obwetaavu okuwuliziganya, okunyweza enteekateeka z’okumalawo obukubagano n’okubangula abantu mu by’obukulembeze.

Owek. Nsibirwa ategeezezza nti obukulembeze bw’ensikirano bukola omulimu munene okuleetawo emirembe n’okugikuuma nga buyita mukutumbula ennonoz’obuwangwa eziruubirirwa okuwang’ana ekitiibwa, okwegumiikiriza n’okunyweza obumu.
Kulwa Katikkiro, Owek. Mugumbule annyonnyodde nti Obwakabaka nga buzimbira busobola bulungi okuwonya ebiwundu ebyava ku byafaayo nebyo ebyaliwo mu bukulembeze obwayita. Kino kisobokera ddala nga buyita mu kukunga abavubuka n’abakyala okwettanira emirembe nga bukolagana n’ebitongole by’obwa nnakyewa.
Olukuŋŋaana luno lwetabiddwamu Minisita Noah Kiyimba, abakulembeze ab’ennono, bannaddiini, abakulembeze abakiikiridde ebibiina by’obufuzi mu ggwanga, n’abakulembeze okuva mu mawanga amalala.









