Bya Ronald Mukasa
Namugoona – Kyaddondo
Minisita wa Bulungibwansi, Obutonde Bw’ensi, Amazzi n’Ekikula ky’ Abantu, Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo asabye abazadde okukomya okugobaganya abaana babwe ababeera basobye wabula bababudeebudde n’okubawa omukisa batereeze obulamu bwabwe.
Obubaka buno Minisita Mayanja abuweeredde mu musomo ogwategekeddwa Minisitule eno ku Lwokusatu e Namung’oona mu Kyaddondo.
Owek. Nkalubo agamba nti abaana bano basobola bulungi okuyigira ku nsobi era nebaddayo nebasoma olwo nebasobola okweyimirizaawo mu biseera by’omu maaso.
Minisita Nkalubo agasseeko nti kikyamu omuzadde okusindikiriza omwana mu bufumbo nga taneetuuka olw’okuba yagudde munsobi nafuna olubuto, kyagamba nti kyabulabe nnyo era kyogera kuteeka bulamu bwa mwana ono mu matiga.
Ono era abafumbo abasabye okuwang’ana ekitiibwa nokwagalana lwebanasobola okukuza n’okugunjula abaana baabwe kubanga abaana okukula obulungi betaaga abazadde bombi bwatyo nabasaba okwewala ebiviirako obutanguko mu maka.
Owek. Mayanja akubiriza abaami okutwala obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka lwekinayanguyira bakyala baabwe okubagondera n’okubaagala.
Abaana abawala n’abalenzi minisita abakuutide okubeera abegendereza beekuumire mu masomero nga beewala ebikolwa eby’omukwano kibayambe okwetangira endwadde n’ebizibu ebirala ebyekuusa kukuzaala nga tebaneetuuka.
Nnaabakyala wa Namugoona Zzooni II, Nakkonde Christine asabye abaami okwewala okuwasa abakyala abangi nga tebalina busobozi ekibaviirako okusuulawo obuvunaanyizibwa bwabwe n’obutabanguko mu maka kyagamba nti kikosa nnyo abaana.
Ono era avumiridde nnyo obulagajavu obususse ensangi zino mu bazadde nga bangi bakeera mu bunnyonyi ate nebadda matuumbi ekiviirako abaana okulekebwawo ettayo neboononeka.
Omusomo guno gwetabiddwako Omuk Peter S Zake omukwanaganya w’ekyikula ky’Abantu mu minisitule eno, Herman Mukiibi omukwanaganya wabavujirizi nabalala bangi.