Bya Ronald Mukasa
Kakeeka – Mmengo
Minisitule y’Ebyenjigiriza mu Bwabakabaka, ebangudde abayizi ku ttendekero lya Buganda Royal Institute of Business and Technical Education (BRIBET) ku ngeri gyebayinza okwewala obuzibu obujja n’okuzaala nga bakyali.
Bano babanguddwa ku bizibu omuli okuzaala abaana abatatuuse, okufuna endwadde ezenjawulo, okufiirwa obulamu bwabwe ne biseera byabwe eby’omumaaso saako n’okweyongera kw’abaana abawangaalira ku nguudo.
Omumyuka w’Omuwandiisi Owenkalakkalira era Omukwanaganya w’ensonga z’ekikula ky’abantu mu minisitule eno era omubanguzi omukulu , Omuk. Peter Zake, akubiriza abayizi bano okubeera abegendereza era okutwala emisomo gyabwe ng’ekikulu okusobola okutangaaza ebiseera byabwe eby’omu maaso n’okugasa eggwanga lyabwe.
Omuk. Zake era abasabye okukozesa obulungi ebiseera byabwe nga bayiga ebintu ebyenjawulo eby’omugaso gyebali kibayambe obutatwalibwa mizze egitali gimu egiyinza okubaviirako ebizibu ebyenjawulo ebiteeka obulamu bwabwe mu buzibu.
Ye Omukwanaganya w’Abavujjirizi mu Buganda, Mukiibi Herman akuutidde abayizi bano okwekuuma saako nobuteetaba mu bikolwa biteeka bulamu bwabwe mu buzibu nga okuggyamu embuto kyagamba nti kikendeeza obuwangaazi bwabwe.
Era abakubirizza okwewala ebikolwa eby’omukwano nga bakyali mu myaka emimpi ebibaviirako okufuna endwadde ez’okutonya nendala.
Omusomo guno gwetabiddwamu abayizi abawala n’abalenzi abateegezeeza nga obwavu obususse muggwanga, abazadde obutawa baana baabwe budde, n’okwegomba mu bavubuka, zezimu ku nsonga eziviriddeko okweyongera kw’omuwendo gw’ abaana abazaala nga tebaneetuuka.