Bya Shafic Miiro
Minisita w’Ebyemizannyo mu Buganda Owek. Robert Serwanga alangiridde nti Empaka z’Omupiira gw’Amasaza zizzeyo e Namboole era emipiira gyombi egiggalawo gigenda kubeera eyo.
Minisita Serwanga okulangirira kuno akukoledde mu Bulange e Mengo mu lukuŋŋaana lw’abamawulire, wategeereza nti emipiira egisembayo mu mpaka z’omwaka guno gizzeeyo e Namboole, nga kuno kuliko omupiira ogw’okulwanira ekifo eky’okusatu ogunaasambibwa ku Ssaawa ttaano ez’okumakya ate ogw’akamalirizo guzanyibwe ku ssaawa mwenda ez’emisana.
Owek. Serwanga ategeeza nti olw’okusoomoozebwa kw’ebyenfuna ebisale by’okuyingira omupiira guno bijja kusigala ku mitwalo ebiri (20,000) mu ssente za Uganda ku muntu asookerwako ate abalala bajja kusasula emitwalo ettaano (50,000/=) n’ekkumi (100,000/=)
Okulangirira kuno wekujjidde nga ttiimu 4 eziri ku luzannya oluddirira olw’akamalirizo zasambye emipiira egisooka Buddu mweyakubidde Kyaddondo ggoolo 3:1 ate Kyaggwe n’ekuba Buweekula ggoolo 2:1. Bano bajja kuddiŋŋana ku Ssande eno nga 13/10/2024.
Olukuŋŋaana luno lwetabiddwamu abavujirizi b’Empaka zino n’abakulembeze ba ttiimu eziri ku mutendera oguddirira ogw’akamalirizo. Bano bonna basanyukidde enteekateeka eno era bagamba beesunze okudda e Namboole, bakoowodde abawagizi okujja mu bungi okuwagira ttiimu zaabwe ku lunaku olwo ate mu ngeri ey’enjawulo abavujjirizi basuubiza ebintu ebipya eri abawagizi b’empaka zino ku lunaku olwo ne mu kweteekateeka wonna.