
Bya Gerald Mulindwa
Jinja – Busoga
Kyabazinga Wilberforce Nadiope Gabula IV asiimye Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’amagezi n’obuwabuzi bw’amuwa mu kuddukanya emirimu gya Busoga.
Okusiima kuno Kyabazinga Wilberforce Gabula Nadiope IV, akukoledde mu lusisinkana n’abakulembeze okuva mu bwakabaka bwa Buganda abakulembeddwamu Katikkiro Charles Peter Mayiga abamukyaliddeko mu Lubiri e Igenge, n’ategeeza nti amagezi Ssaabasajja Kabaka gazze amuwa n’okumulambika gamuyambye nnyo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’o bwa Kyabazinga.
Agambye nti bingi byayigidde ku Beene olw’obumanyirivu bwalina mu nsonga z’obuwangwa ne nnono era n’asaba Katonda amuwangaaze ayongere okulamula Obuganda.

Isebantu yeebazizza obwakabaka bwa Buganda olw’okwongera amaanyi n’okunyweza omukwano wakati w’Obwakabaka bwa Buganda ne Busoga nga bajjajaabwe okuva edda nedda bwebaali ekitole mu nteekateeka zonna.
Kyabazinga yeyamye okwongera amaanyi mu kukola pulogulaamu ez’enjawulo okulaba nga enjuuyi zombi zikwatira wamu okumalawo ebizibu ebitawaanya abantu okuli, eby’enfuna mu maka n’okunyweza ennono n’obuwangwa bwabwe.
Era yeebazizza obuwagizi bwonna Buganda bweyateekamu mu nteekateeka z’embaga ya Kyabazinga eyaliwo omwaka oguwedde.

Bwatyo ayagalizza ab’e Mmengo emikolo emirungi egibaleese e Busoga era awagidde ekirowoozo kya tiimu empanguzi mu mpaka z’Amasaza e Buganda ne Busoga okusambamu omupiira ogw’omukwano.









