
Bya Gerald Mulindwa
Bulange – Mmengo
Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone, Owek. Robert Sserwanga akuutidde abavubuka ku bukulu obutondebwensi bwebulina eri obuwangwa bwa Buganda naddala mu Bika bwatyo naabasaba okubukuuma okutaasa ebiseera bya Buganda eby’omu maaso.
Owek. Sserwanga agamba nti bajjajja ba Buganda balina okwolesebwa okwenjawulo nebasimba Ebika nga babibbula mu bimera, ebisolo, ebinyonyi, n’omuddo, n’ekigendererwa eky’okwagala okukuuma ebitonde bino bireme kusaanyizibwawo.
Okulung’amya kuno Minisita Sserwanga akukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu bw’abadde aggalawo omusomo ku butondebwensi ogumaze ennaku bbiri.
Ono abavubuka abajjukizza obuvunaanyizibwa bwe boolekedde okukuuma obutondebwensi obutaaguddwataaguddwa ensangi zino ekiviiriddeko ebitonde n’obutonde okusaanawo.
Minisita Sserwanga annyonnyodde nti mu kutabangula obutondebwensi muvuddemu ebizibu bingi omuli, ebbula ly’eddagala erijjanjjabisa obutonde nga n’ensimbi abantu ze bandyeyambisizza mu birala bazimalira mu kujjanjjaba endwadde ezibalukawo olw’okwonoona obutondebwensi.
Ababanguddwa abasabye okubunyisa enjiri, balwanyise abatyoboola obutondebwensi, okusobola okutangaaza ebiseera by’abaana baabwe eby’omumaaso.
Ye Minisita wa Bulungibwansi, obutondebwensi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu, Oweek. Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, ayanjulidde abakulembeze bano ekirowoozo eky’okutandikawo ekibiina ky’Abavubuka ku butondebwensi, n’ekigendererwa eky’okusika endowooza zaabwe ku butonde era nokubakubiriza okulwanyisa abo abatyoboola obutonde.

Oweek Nkalubo ategeezezza abavubuka nti baagala amaloboozi gaabwe gaveeyo ku butondebwensi kubanga bwebataakikole ensi ejja kubakaluubirira mu biseera eby’omumaaso.
Omusomo gukulungudde ennaku bbiri era abavubuka babanguddwa ku miramwa egiwerako okuli; enkyuukakyuuka y’obudde, engeri ez’enjawulo abavubuka zebeetaaga okuyambibwamu okwanganga ebisomooza embeera z’obudde n’emirala. Omusomo guwagiddwa bannamukago b’Obwakabaka aba UNDP.









