Bya Gerald Mulindwa
Bulange – Mmengo
Olukiiko olukulembera abaami ba Masaza, lusisinkanye okutema empenda butya bwebanaatambuza obuvunaanyizibwa obwabakwasibwa gyebuvuddeko.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Mmande nebateesa ku ngeri gyebagenda okwongera okutumbula empeereza ez’enjawulo mu bantu ba Beene.
Ssentebe w’akakiiko kano, Owek. Kangaawo, Ronald Mulondo, yakubirizza olutuula luno olusookedde ddala.
Kkangaawo Mulondo bano abasabye okubeera obumu basobole okuweereza abantu ba Beene basobole okuzza Buganda ku ntikko.
Olutuula lwetabiddwamu omukwanaganya w’emirimu mu Gavumenti ez’Ebitundu, Kamisona Harris Lubega era abalambise ku ngeri gyebalina okutambuzaamu emirimu gyabwe mu bwenkanya n’obwesimbu okuganyula abantu b’Omutanda.
Kinajjukirwa nti olukiiko luno lwalondebwa mu lusirika lw’Abamasaza, abamyuka baabwe, wamu n’abateesiteesi ba Masaza olwatuula ku Pope Paul Hotel mu Ndeeba gyebuvuddeko.