Bungereza
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abavubuka abawangaalira e bunaayira obutakemebwa kufeebya nnono zabwe kuba zezinnyonnyola kyebali. Mukuumaddamula akkaatirizza nti omuntu ali ku mawanga ekiseera kituuka nga ateekeddwa okunnyonnyola kyali ,ekintu ekiraga obusukkulumu bw’obuwangwa bwaffe.
Okwogera bino, Katikkiro abadde nu nsisinkano n’abavubuka ba Buganda abawangaalira mu Bulaaya mwebakubaganyirizza ebirowoozo ku mulamwa: Obuganda ku mawanga: – Engeri y’okweyambisa obukugu n’obumanyirivu okuleeta enkulaakulana mu bavubuka. Wano wasinzidde n’akubiriza abaana ba Buganda abali ku mawanga okukola buli kyebakwatako mu busukkuluma olwo gyebabeera babeeguye mu kifo ky’okulowooleza mu kubatiitiibiza ku mawanga.
Owomumbuga akiggumizza nti obuwangwa bwaffe bunnyonnyolerwa mu buntubulamu kuba bwebunnyonnyola omuganda omutuufu gwagambye bnti alina okuba nga wa nsa, yekkiririzaamu, munyiikivu, yewa ekitiibwa n’okukiwa abalala, aba mukozi era afaayo okumanya obuwangwa bwe.
Bano Kamalabyonna abategeezezza nti Beene yesunga okumanya ebivudde mu lukungaana luno naatendereza omutindo ogwolesebbwa abateesa abakubaganyizza ebirowoozo ku miramwa egy’enjawulo egizimba abavubuka ba Kabaka beyawa omulembe Omutebi. Mu ngweri yeemu abakuutidde okunyiikirira ennyo emisomo gyabwe kibayambe okufuuka abenjawulo ate nga bwebagimaliriza baleme kunyumya bunyumya ku buyivu bwabwe wabula babwoleke mu kukozesa omutindo n’obunyiikivu.
Minisita za gavumenti ez’ebituntu mu Bwakabaka, entambula za Kabaka n’ensonga z’ebweru wa Buganda, Owek. Joseph Kawuki asinzidde mu lusisinkana luno naakubiriza abavubuka okutambulira mu buwuufu bw’abantu abalina ensa kibayambe okunyweza ekifaananyi Kya Buganda ey’enkya bafaananeko abaweereza abawerako mu Bwakabaka abeekwata Owek. Mayiga nga Kabaka amutumye mu bavubuka n’abateekateeka mu buweereza bwa Kabaka. Owek. Kawuki ajjukizza abavubuka nti bebannannyini Buganda eya leero n’enkya bwatyo nabasaba obuteesuulirayo gwannaggamba oba okuba abatunuulizi ku nsonga z’Obwakabaka.
Omubaka wa Kabaka mu Bungereza ne Ireland, Owek. Geoffrey Kibuuka ategeezezza Katikkiro nti abavubuka ba Bungereza basitukiddemu okutambulira mu buwuufu bwabwe okusobola okutwala mu maaso omumuli gw’okuzza Buganda ku ntikko naasaba abazadde b’abaana abazaaliddwa n’okukulira mu Bulaaya okubanyweza ennono zaabwe.
Omusomo gwetabiddwako Abekitiibwa; Robert Waggwa Nsibirwa, Ahmed Lwasa, Hajji Amisi Kakomo, Israel Kazibwe Kitooke, Nelson Mugenyi, Samuel Ssekajugo, Rashid Lukwago, Hasfa Nalweyiso, Mukwenda n’Omumyukawe, omumyuka wa Ssebwana, Abamyuka b’omubaka wa Beene ow’e Bungereza: Robert Mukiibi, Ssekisonge, Janat Nabatta, ssaako abaweereza ku nkiiko mu ssaza Bungereza, abakulembeze b’abavubuka e Bungereza abakulembeddwamu Baker Bbosa n’abavubuka bangi ddala.