Massachusetts. Sasaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye abantu be ababeera emitala w’amayanja kwossa abaagaliza Obuganda ebirungi, olw’okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka ezigendererwamu okutumbula obulamu bw’abantu. Obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka busomeddwa Omulangira Crispus Jjunju Kiweewa bw’abadde atongoza ettabi lya Kabaka Foundation e Massachusetts Boston mu Ssaza lya Kabaka erya New England mu ggwanga ly’America. Omukolo guno gubadde ku Crown Plaza Hotel esangibwa mu kibuga Woburn e Massachusetts.
Ku mukolo guno, Omulangira Jjunju era atongozza Bboodi ya Kabaka Foundation ekulemberwa Omw. Ssentongo James era nebakuba ebirayiro okuweereza Ssaabasajja awatali kumutiiririra.Ebimu ku bigendererwa bya Kabaka Foundation kwe kuzimba essomero li ‘Kabaka Foundation Academy’ okusobozesa abaana abali mu migotteko okusoma kwossa okutumbula eby’obulamu mu Buganda.Enteekateeka eno ey’okuzza abaana abawangaalira mu mugotteko mu masomero Nnyinimu agenda kugitandikira mu kitundu kye Kinnawataka e Kireka ng’eno omuwendo gw’abaana abatasoma guli waggulu nnyo. Okusinziira kukunoonyereza okwakolebwa ekitongole ki ekitongole ki kabaka foundation gyebuvuddeko, omuwendo gw’abaana be Kinnawattaka abatasoma gusukka mu 2286 .Beene era asiimye abavubuka bonna mu Buganda ne mu masaza ge agali ebweru wa Buganda olw’obumu bwebazze boolesa eri Nnamulondo bwatyo era abalagidde obutaddirira.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation Omuk. Edward Kaggwa Ndagala alaze obwetaavu obuli mu kutumbula eby’enjigiriza n’ebyobulamu bw’abantu ba Nnamunswa. Omubaka wa Ssaabasajja mu Ssaza lya New England Boston USA, Owek. Henry Ndawula Matovu ku lw’abantu ba Kabaka e Boston yeyamye okwongera okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka zonna Buganda etuuke ku ntikkoOmwami wa Kabaka amulamulirako essaza li New England Boston USA Owek. Henry Ndawula Matovu yeyamye ku lw’abantu ba Kalalankoma abali mu ssaza lino nti bajja kuwagira enteekateeka za Maasomoogi zonna. Kinajjukirwa nti Omutanda azze atongoza amatabi g’ekitongole kye ki Kabaka foundation mu masaza ge agasangibwa ebweru wa buganda okuli elya UAE , Bungereza, Sweden, Norway n’amalala nga gano gaze gagondera ekiragiro gy’okuvujjirira ekitongole kino okutuukiriza enteekateeka za Ssemunywa ez’okutumbula embeera z’abantu abawangalira mu mugoteko.