London- Bungereza
Omukolo gwokutongoza ttabamiruka wa Buganda Bumu Europe Convention, gukoleddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku Green Towers Community Centre mu kibuga London wakati mu bantu ba Kabaka abawangaalira mu bitundu byeyo okwetoloola Amasaza ge Bulaaya okuli, Bungereza ne Ireland, Scandinavia, ne Rhinelands.
Katikkiro bano abakuutide okunyweza obumu era beeyagalire mu buwangwa bwabwe era tebawa muntu yenna mwagaanya agezaako okubawuddiisa abaggye ku mulamwa n’abalabula nti abantu abo beenoonyeza byabwe.
“Tetwagala muntu yenna kutwagala kasita ffe tweyagala, era bwetweyagala teri ayinza kutuyisaamu maaso, “Buganda erimu abantu obukadde 15″, bwetuba obumu ne tweyagala omuntu omulala yenna alina okutweyunira”, Katikkiro bwategeezezza.
Ababuulidde okwolesebwa kwa Buganda kweriko nti kuno kwefaanaanyirizaako Abayudaaya mu America, omuwendo gwabwe mutono naye be bafuga buli kimu mu America, omuli