
Bya Musasi Waffe
Ireland – Bungereza
Omwami wa Kabaka akulembera essaza lya Ireland ne Bungereza, Owek. Ssaalongo Godfrey Kibuuka, ategeezezza nti enteekateeka ezisinga ziwedde nga kati balindiridde kwaniriza Kamalabyonna Charles Peter Mayiga akole omukolo gw’okutongoza nokuggulawo Ttabamiruka ono.
Bino abitegeezezza abakiise ku Lukiiko lwe bwebabadde ku mutimbagano gwa ZOOM nga bakubaganya ebirowoozo ku nteekateeka ezisembayo ku Lwokusatu.
Owek. Kibuuka asabye abantu ba Beene mubitundu bino okujjumbira Ttabamiruka ono mu bungi basobole okubaako ettofaali lyebagatta ku Buganda n’obulamu bwabwe.
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek. Joseph Kawuki, asinzidde mu lukiiko luno naategeeza abateesiteesi nti obwato bufa magoba n’olwekyo basaana okutwala ennaku ezisigaddeyo nga nkulu ddala.
Ye Omubaka wa Kabaka mu Sweden ne Scandinavia Oweek. Nelson Mugenyi ageraageranyizza ekiseera ekisigaddeyo ku kutuula ebigezo by’akamalirizo, naasaba banne okwongera okwekaliriza buli nsonga bateeketeeke omukolo oguweesa Nnamulondo ekitiibwa.
Ate Omwami Robert Mukiibi Omumyuka w’Omwami wa Kabaka e Bungereza ne Ireland era atwala ebbendonendo lya Northern London egenda okubeera olukungaana luno, ayiseeyise mu pulogulaamu y’ennaku essatu era naategeeza nti kati buli kimu kiwedde, essaawa y’esigadde.
Olukungaana lwetabiddwamu Abamyuka b’Omubaka wa Bungereza ne Ireland okuli Mky. Janat Nabatta Mukiibi, Rev. Enock Mayanja Kiyaga ne Mw. Godfrey Ssekisonge, Omumyuka w’Omwami wa Kabaka mu Sweden ne Scandinavia omw. Baker Kabugo, Mky. Lyndah Ssekayita Omumyuka w’Omwami wa Kabaka owa Rhinelands, abatuula ku nkiiko ezikola amasaza ago asatu, ssaako ab’olukiiko oluteesiteesi.
Ttabamiruka wa kuggulwawo Katikkiro wa Buganda Oweek. Charles Peter Mayiga kulwokutaano nga 13/09/24 era atongoze enteekateeka ya ttabamiruka wa Bulaaya etuumiddwa Buganda Bumu Europe Convention BBECO ate aggalwewo enkeera era Katikkiro atuuze omwami wa Kabaka Owessaza ate ku Sunday nga 15/09/24, Katikkiro ajja kusisinkana Abavubuka abakola emirimuegy’ekikugu(professional youths) ayongere okubalambika.
Ttabamiruka Ono wa kutambulira ku mulamwa Obuganda ku mawanga: Tekinologiya mu kutumbula obumu, enkulaakulana ennono, obuwangwa, n’abavubuka.









