Bya Musasi Waffe
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek. Joseph Kawuki, yatuuse dda e Bungereza okwongera okuttaanya enteekateeka za Ttabamiruka wa Buganda Bumu Europe Convention (BBECO) asookedde ddala mu byafaayo.
Owek. Kawuki ayaniriziddwa Omubaka wa Kabaka mu Ssaza lye Bungereza ne Ireland, Owek. Godfrey Kibuuka n’Omumyukawe Muky. Janat Nabatta Mukiibi ku kisaawe kye Gatwick mu London.
Ttbamiruka ono wakutuula mu kabuga ka Edmonton akasangibwa mu mambuka ga London okumala ennaku ssatu okuva nga 13 okutuuka nga 15/09/24.
Ono agenda kutongozebwa Kamalabyonna Katikkiro Charles Peter Mayiga.
Ttabamiruka ono wakuyindira wansi w’omulamwa gw’okukozesa Tekinologiya okunyweza obumu, okuleetawo enkulaakulana, okutumbula obuwangwa n’okulaakulanya abavubuka .