Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abalimi b’emmwaanyi okujjumbira enteekateeka y’okwewandiisa nga Palamenti y’omukago gwa Bulaaya bweyalambise okusobola okutaasa akatale kano kuba zisobola okusibirwa ekikookolo.
Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoledde mu Bulange e Mmengo bw’abadde ayogerako ne bannamawulire ku Mmande.
“Waliwo obwetaavu obwamaanyi ennyo okuwandiisa abalimi b’emmwaanyi, okumanya ebyalo gyebazirimira awamu n’ekika kyebalima,obugazi bw’emisiri. okuwandiisa okw’omulundi guno kukolebwa lwa bulungi bwa mmwaanyi. Singa tugobwa mu katale k’emmwaanyi naddala aka Bulaaya ebbeeyi ejja kugwa n’ebirungi byetubadde tulaba nabyo bijja kuggwaawo,” Ow’omumbuga bw’annyonnyodde.
Ono agamba okuwandiisa okwali kukoleddwa Gavumenti ya Uganda yakuwakanya kuba kwalimu ebirumira omuli okusiba abalagajjalira emmwaanyi naye kuno kukoleddwa lwa bulungi bwa mulimi okusobola okutaasa ebbeeyi obutagwa.
Kamalabyonna Mayiga agambye nti etteeka lino terikwata ku mmwaanyi zokka wabula liraga nga okutandika nga lumu January omwaka ogujja, emmwanyi n’ebirime ebirala okuli ‘cocoa’, embaawo n’ennyama okusobola okukkirizibwa mu katale ka Bulaaya zirina okubaako ebbaluwa ekakasa nti ettaka kwebyakungulwa teryaliko kibira wadde okulimwa mu ntobazi.
Mayiga alaze essanyu olw’abantu okujjumbira enteekateeka ya ‘Mmwanyi Terimba’ gy’agamba nti ekyusizza obulamu bw’abantu era nategeeza nti evuddemu ebibala bingi nga Maasomoogi bweyalengera.
Wano waasabidde abafunye ku ssente eziva mu mmwanyi obutayonoona bulamu bwabwe wabula babutereeza nga bakola ebintu omuli okuweerera abaana mu masomero amalungi, okugulira abaana ebyetaago byonna eby’obulamu, okuyoyoota ennyumba zabwe n’okutereeza endya awaka.
Mukuumaddamula era akuutidde abasajja okwewala abakyala abatunda akaboozi nga agamba nti bwebataakikole bayinza okufuna akawuka ka mukenenya obulamu bwabwe nebugootaana.
Kamalabyonna era akalaatidde abantu okwemanyiiza okutereka ku ssente z’amakugula zibayambe mu kaseera akazibu n’okukulaakulana era n’okutumbula embeera zabwe.
Mayiga agamba nti bakukola buli kimu okulaba nga bataasa ebbeeyi y’emmwaanyi obutagwa kuba emyaka 8 gyebamaze nga bakunga abantu okulima ekirime kino si mitono bwatyo naabasaba okuwuliriza amaloboozi agava e Mmengo n’ekitongole ki UCDA.
Ono annyonnyodde nti ekitongole ky’Obwakabaka ki BUCADEF kyakwongera okulambika abalimi ku nteekateeka eno. Ensisinkano eno yeetabiddwamu Minisita avunaanyizibwa ku mawulire n’okukunga abantu, Owek. Israel Kazibwe Kitooke awamu n’abakungu abalala.