Bya Shafic Miiro
Bulange – Mengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga azzeemu okukaatiriza ekirowoozo kye nga agamba nti bubeera bulyazamanya omuntu abeera akutte ekifo eky’okubiri obutakiika mu Palamenti ensonga naazirabira wabweru ate alina abantu bangi ababeera bamukkiririzaamu.
Owek. Mayiga okulung’amya kuno akuweeredde mu Bulange e Mmengo bw’abadde awayaamu ne bannamawulire ku nsonga ezigenda mu maaso mu ggwanga ku Lwokubiri.
“Omuntu abeera akutte eky’okubiri ayingire butereevu mu Palamenti era yabeera akulira oludda oluvuganya ateeseze abantu be bano abaamulonda. Nze ndowooza nti ekyo kyandituwonyezza ebintu bingi kubanga engeri endala zonna zirinamu obukolomooni obuyinza okutabula eby’obufuzi era nga bwetukirabyeeko,” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.
Kamalabyonna Mayiga agamba nti singa akutte eky’okubiri afuuka akulira oludda oluvuganya Gavumenti naye ate nakkiriza okunafuyizibwa bubeera bunafu bwe ng’omuntu era kino aba DP ne UPC byeboogera ku bakama baabwe.
Owek. Mayiga awadde eky’okulabirako ky’ akalulu akawedde aka 2021, Robert Kyagulanyi Ssentamu mweyakwatira eky’okubiri nategeeza nti kyandiyambye nnyo nga yakulira oludda oluvuganya naasobola okukubiriza ababaka b’ekibiina kye butereevu n’okusobola okulwanirira byakiririzaamu.
Ono asabye bannayuganda okukomya okunyiiganyiga ku buli nsonga ebeerawo naye beemanyiize okukubaganya ebirowoozo ku nsonga nga zino.
Owek. Mayiga era alabudde ababaka abatuula mu Palamenti okukomya okuyombaayomba kubanga kubo buli lwekuyitirira abateesa amaaso bagaggya ku bintu ebiruma abantu nebadda mu bitayamba balonzi babwe.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga n’omuwendo gw’ababaka gusaana okusalako kubanga tebasobola kufuna budde buteesa ate nga basaasaanyizibwako ssente mpitirivu bwatyo naasaba omuwendo gusalibweko okutuuka ku babaka nga bibiri abanaateesa ebiyamba eggwanga.
Kino kiddiridde Palamenti okuwa omubaka wa Mityana South, Richard Lumu olukusa agende mu maaso n’okukola ebbago ku nzirukanya ya Palamenti ng’ekimu ku byayagala kwekulaba nti akulira oludda oluvuganya alondebwa ababaka bonna ab’oludda oluvaganya so si kibiina ekisinzizza ababaka abangi.
Kinajjukirwa nti Kamalabyonna Charles Peter Mayiga yasooka okuwa ekirowoozo kino mu mwaka gwa 2013 bweyali agenyiwaddeko ku Palamenti mu nteekateeka y’Ettofaali nasisinkana Sipiika Rebecca Kadaga n’eyali akulira oludda oluvuganya Nandala Mafabi nga agamba nti kijja kuyamba omuntu afunye obululu obungi eddoboozi ly’ abantu abamukkiririzaamu okutuuka obutereevu nga tayise mu balala.