Bya Shafic Miiro ne Ronald Mukasa
Wakiso – Kyaddondo
Obwakabaka nga bukolagana n’eddwaaliro lya St. Joseph’s Hospital Wakiso butaddewo omukisa eri abaana n’abantu abalina obulwadde bwa nnakimu okujjanjabibwa ku bwerere.
Kino kibukiddwa Minisita Robert Sserwanga ku makya g’Olwokuna bw’abadde akiikiridde minisita w’ebyobulamu okuggulawo omusomo eri abavunaanyizibwa ku by’Obulamu mu masaza oguyindidde mu Bulange e Mmengo.
Owek. Sserwanga, akubirizza abazadde okufaayo ku bulamu bw’abaana baabwe okuviira ddala nga bali mu lubuto ate n’okubalabirira obulungi nga bakula.
Minisita Sserwanga asabye abantu okufaayo ku bulwadde bwa nnakimu buno nga bayamba ababulina okulaba nga bafuna obujjanjabi olwo Buganda esobole okudda ku ntikko ng’abantu ba Nnyinimu balamu.
Ab’ebyobulamu bano basomeseddwa ku ngeri ez’enjawulo obulwadde bwa nnakimu gye bujjamu na butya bwe busobola okujjanjabibwa.
Omusomesa omukulu ow’olunaku Dr. Nicholas Joseph Mugagga ategeezezza nti abaana bangi abazaalibwa nga ekibuno oba omumwa gweyasaamu naye nebalemwa okufuna obujjanjabi naabasaba okukozesa omukisa guno.
Dr. Mugagga asinzidde wano naakubiriza abazadde naddala ba maama okufaayo ennyo ku bintu byebalya nga bali mbuto, n’obutakozesa ebiragalalagala okusobola okukendeeza ku kizibu kino.
Abasomeseddwa bakubiriziddwa okutuusa obubaka ku bantu ba Nnyinimu mu bitundu byonna okulaba ng’obulwadde buno bufufugazibwa ate n’ababulina obutaboolebwa.