
Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga alaze obwetaavu bw’okusomesa abayizi eby’obulimi babitegeere era babyagale kiyambeko okudabulula ebyenfuna by’eggwanga ebisereba buli lukya.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuwadde asisinkanye akakiiko akafuzi ak’ abaasomerako ku King’s College Buddo ne Buddo Junior School ku Lwokusatu e Bulange Mmengo.
Owek. Mayiga agamba nti bannayuganda abasoba mu bukadde 30 balimi ekitegeeza nti ebyenfuna by’eggwanga lino bitambulira ku bulimi bwatyo nasaba gavumenti okuteeka essira ku masomo g’ebyobulumi nga amawanga amalala bwegakola okusobola okutumbula enkulaakulana n’ebyenfuna.
Ono era anokoddeyo eggwanga lya South Korea lya gamba nti ebyenfuna byalyo byazimbibwa ku bulimi ekyaliviirako okusajjakula mu by’amakolero.
Ow’omumbuga abeebazizza olw’okufuna nebakuuma ennono y’essomero lyabwe bwatyo nakunga amasomero amalala omutali nkola eno, okulabira ku baaliko abayizi bano nabo bagitandike kiyambeko mukuzaamu abayizi amaanyi.

Owek Mayiga bano era abeebazizza olw’okuwerera abaana abala, ate naddala bbassale gye bawadde eri omuyizi mu Lubiri Nnaabagereka P/S nagattako nti kikulu nnyo oyo afunye omukisa ate okukwata ku bulamu bw’abalala nabo naabasitula.
Bannabuddo bano n’abasomesa baayo, Kamalabyonna abasabye okunyweza omutindo kibayambe okusobola okuggyayo omutindo omulungi kwegazimbibwa.
Abasuubizza okutuusa okusaba kwabwe ewa Beene kunsonga y’okuzzaawo ekkanzu Nnyinimu gyeyawanga alondeddwa ku bukulembeze bwa bayizi mu masomero gano.
Ye Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Owek Robert Sserwanga yeebazizza nnyo Bannabuddo bano olwa sikaala gyebawadde omuyizi munna mukisa okuva ku somero lya Lubiri Nnaabagereka Primary School era naasaba abalala okibalabirako.

Omukulembeze w’ekibiina ekitaba abaaliko abayizi bano, Faruku Ssewankambo ayanjulidde Katikkiro enteekateeka zabwe omuli okulondoola entambuza y’emirimu mu masomero gano, okukwanaganya abaliko abayizi, abasomesa n’abayizi abali mu masomero Kati, saako nokukwatiirako abayizi bannabitone mu masomo gaabwe.









