
Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abazadde okukendeeze ennimi eggwira nga balung’amya abaana babwe mu maka kibayambe okwongera olutegeera n’okulumanya.
Mukuumaddamula bino abyogedde asisinkanye abayizi abasoma Oluganda okuva ku Nabisunsa Girls School ku Lwokuna mu Bulange e Mmengo.
Owek. Mayiga ategeezezza nti olulimi kya bugagga omuntu yenna ky’ateekeddwa okuwa obudde okuyiga kubanga kiyamba omuntu okuyiga ebintu bingi ng’Obuwangwa, Ennono n’Empisa ebyekuusa ku lulimi olwo lw’abeera ayize.
Mayiga akkaatiriza nti omuntu ateekeddwa kusooka kuyiga lulimi lwe oluzaaliranwa okusobola okutegeera ebimukwatako olwo alyoke agatteko ennimi endala, bwatyo akubirizza abazadde n’amasomero obutakugira baana kuyiga nnimi zaabwe ennansi.
Ono annyonnyodde nti ensi zonna ezikuze zitambulira ku nnimi nnansi bwatyo naasaba abayizi okuzisoma era bazitegeera okusobola okwanguyirwa emisomo.

Yeebaziza abayizi abasoma olulimi Oluganda era abategeezeza nti emiganyulo mingi ddala gye bajja okufuna nga battadeyo omwoyo okutegeera obulungi bye basoma.
Kamalabyonna Mayiga era asinzidde wano nakubiriza abazadde okusobozesa abaana baabwe okwogera ennimi zaabwe naasekerera abo abalowooza nti okwogera ennimi ennansi kibateeka wansi.
Ow’omumbuga era akubiriza amasomero a maguundiivu mu Buganda okusomesa abaana olulimi oluganda.
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono era avunaanyizibwa ku lulimi Oluganda, Owek. Dr. Anthony Wamala alaze obwennyamivu olw’abantu okusuula Obuwangwa n’Ennono zaabwe nga bazinafuya ate ne bawaana n’okusukkulumya eby’abalala.
Owek. Wamala agasseeko nti ekimu ku byawula omuntu omu ku mulala lwe lulimi, era bwatyo yeebaziza abayizi abasoma olulimi Oluganda newankubadde nga waliwo abalunafuya.

Ye Minisita w’Ebyenjigiriza mu Bwakabaka, Owek. Coltilda Nakate Kikomeko agamba nti bannabyanjigiriza balina omulimu okuyambako abaana abato okuyiga n’okutegeera ennimi zaabwe nga bayita mu kuyimba, okutontoma, emizannyo n’ebirala okulutumbula.
Akulembeddemu abayizi bano era omusomesa wabwe, Sauda Luyiga yeebazizza Kamalabyonna olw’okufisaawo akadde okusisinkana abayizi bano era n’amwebaza olw’emirimu gyebakolera embuga n’okulambika abantu ba Beene.
Ensisinkano eno yetabiddwamu Minisita w’Amawulire, Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek Israel Kazibwe Kitooke, Minisita Noah Kiyimba ne Ssenga Joyce Nalujja Tomusange okuva mu kibiina ky’Olulimi Oluganda.









