
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro, Owek Robert Waggwa Nsibirwa akubirizza abantu okwekebeza obulwadde bwa Kkookolo, era ategeezeza nti kikulu nnyo okumanyisa abantu ku bulwadde buno, kubanga bwe buzuulibwa amangu wabeerawo em
Okwogera bino abadde Gayaza n’ amatabi ga Rotary 8 ku Lwomukaaga.

Emisinde gino gigenda kubeerawo nga 25 omwezi guno era Oweek. Nsibirwa akoowodde abantu okugyetabamu okusobola okusonda ensimbi ezizimba ekifo kya kkookolo mu ddwaaliro ly’e Nsambya okusobola okuyamba abakosebwa obulwadde buno.
Oweek. Nsibirwa asimbudde Bannalotale ababadde bakuŋŋaanidde mu Kisaawe e Nakwero, ne batambula kilomita eziwereddeko ddala nga 6 ng’akabonero ak’okukunga Bannagayaza okujjumbira emisinde.

Oluvannyuma aguddewo ekifo ky’abakyala abazaala ku ddwaaliro lya People’s Hospital erizimbiddwa munnalotale Dr. Frank Ndugga era amwebazizza nnyo olw’okuteekawo eddwaaliro lino mu kibuga ky’e Gayaza mu kwongera okutuusa obuweereza ebw’ebyobulamu ebirungi eri abantu.
Omwami w’Essaza Kyaddondo Oweek. Hajj Magandaazi Matovu asiimye nnyo enkolagana wakati w’Obwakabaka ne Rotary naddala mu kutumbula embeera z’obulamu bw’abantu, yeebaziza ne Dr. Ndugga olw’okuzimba eddwaaliro, ly’agambye nti ligenda kuganyula nnyo Bannakyaddondo n’abantu abalala.









