• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga asisinkanye eyaliko Pulezidenti wa Nigeria,  Jonathan Goodluck naalabula abakulembeze ba Africa abalemera obuyinza

Gambuuze by Gambuuze
August 9, 2024
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga asisinkanye eyaliko Pulezidenti wa Nigeria,  Jonathan Goodluck naalabula abakulembeze ba Africa abalemera obuyinza
0
SHARES
26
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ronald Mukasa

Bulange – Mmengo

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asisinkanye eyaliko Pulezidenti wa Nigeria, Goodluck Jonathan era naasaba abakulembeze ba Africa okumulabirako baweeyo obuyinza mu mirembe ensi zabwe zisobole okukulaakulana.

Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo leero ku Lwokutaano ng’eno, Pulezidenti eyawummula Jonathan  n’abakungu abamuwerekeddeko batuuseeyo ku ssaawa nga Nnya ez’okumakya era baaniriziddwa Katikkiro Mayiga, Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, Omumbejja Dinah Kigga, Omumbejja Katrina Ssangalyambogo, Omulangira Felix Muteesa, Minisita David F.K Mpanga, Sipiika Mugumbule n’abakungu abalala.

Owek. Mayiga asinzidde wano nategeeza nti abakulembeze okulemera mu buyinza bakotogera abalala abalina ebirowoozo ebirungi okukulembera amawanga gabwe olusi ekigaviirako okusaanawo wamu n’okuzing’amya enkulaakulana.

Katikkiro Mayiga atendereza HE Goodluck Jonathan olw’okulaga obukulembeze obwekisajja kikulu nawaayo obuyinza mu Mirembe nasaba abakulembeze ba Africa okumulabirako bwebaba baagala amawanga gabwe okutebenkera.

Mukuumaddamula mu mbeera yemu annyonnyodde nti gavumenti za Africa zirina okumanya nti obukulembeze bw’ennono bwankizo nnyo mukutuusa obuweereza ku bantu kubanga babuwuliriramu nnyo nasaba babweyambise nnyo okusobola okutuusa obuweereza ku bantu.

Kamalabyonna Mayiga yeebaziza H.E Goodluck Jonathan olw’okukiika embuga nti okujja kwe kwa kwongera enkolagana ey’omuggundu wakati w’Obwakabaka bwa Buganda n’eggwanga lya Nigeria.

Ye Pulezidenti wa Nigeria Eyawummula Goodluck Jonathan mukwogera kwe atendereza Obwakabaka bwa Buganda olw’okukulemberamu kaweefube w’okukulaakulanya abantu bakabaka bwatyo nasuubiza okudda asisinkane Empologoma bweriba esiimye.

Omumyuka owokubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa alambululidde abagenyi enteekateeka z’Obwakabaka ezenjawulo.

Omugenyi atonedde Ssaabasajja kabaka ebirabo ne Katikkiro namuwa ebirabo okubadde n’ekitabo ekyatuumwa Buganda the Gateway to the Paerl of Africa.

Oluvannyuma Pulezidenti Goodluck Jonathan alambuziddwa Katikkiro ebifo ebyenjawulo okubadde n’ekisenge ky’Olukiiko lwa Buganda wakati mukumuyitiramu ku bitonotono ebikwata ku bintu bino.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist